OMULAMUZI w'eddaala erisooka owa kkooti y'e Luzira ayimbudde munnabyabufuzi era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, Miria Matembe okuva mu kkomera e Luzira abawagizi be ne bacacanca.
Omulamuzi Sheila Atim ye yayimbudde Matembe ku kakaluka bukadde 3 ezitali za buliwo, n'amulagira obutaddamu kwogera bigambo bya bukyayi mu kiseera bwe banaaba bawuliriza omusango guno.
Okusabira Matembe okuyimbulwa kwakulembeddwa bannamateeka; Samuel Muyizzi Mulindwa, Steven Kalali ne Anthony Asiimwe. Bano baasinzidde ku nsonga y'okubeera nga mukyala mukulu (wa myaka73), munnabyabufuzi omugundiivu nga yaliko minisita era y'omu ku beetaba mu kukola Ssemateeka wa Uganda owa 1995.
Baategezezza ng'amaka ge bwe gamanyiddwa nga gali Luzira Lake Drive nga gatwalibwa kkooti eno. Bannamateeka era baategeezezza kkooti nti, nga June 23, 2026 amaka ge e Luzira gaalumbibwa abantu ne bagayingira ku mpaka wabula tebaamusangayo kyokka omwami we bwe yamutegeeza n'abaako mu mikwano gye gye yeekweka kyokka nabo baalumbibwa.
Yawakanyizza n'abantu be yaleese okumweyimirira nti ennamba zaabwe tezaabadde mu mannya gaabwe.