Amawulire

Matembe ayimbuddwa banne ne bacacanca

OMULAMUZI w'eddaala erisooka owa kkooti y'e Luzira ayimbudde munnabyabufuzi era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, Miria Matembe okuva mu kkomera e Luzira abawagizi be ne bacacanca.

Matembe mu ssanyu n’owooluganda lwe (ku ddyo) oluvannyuma lw’okuyimbulwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULAMUZI w'eddaala erisooka owa kkooti y'e Luzira ayimbudde munnabyabufuzi era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, Miria Matembe okuva mu kkomera e Luzira abawagizi be ne bacacanca.

Omulamuzi Sheila Atim ye yayimbudde Matembe ku kakaluka bukadde 3 ezitali za buliwo, n'amulagira obutaddamu kwogera bigambo bya bukyayi mu kiseera bwe banaaba bawuliriza omusango guno.

Abaamweyimiridde yabalagidde okusasula obukadde 2 ezitali za buliwo nga bano kuliko; omubaka omukazi owa Amuru, Lucy Akello, omubaka Rushenyi Naome Kabasharira, Prima Kwagala ne Godbert Tumushabe.

Okusabira Matembe okuyimbulwa kwakulembeddwa bannamateeka; Samuel Muyizzi Mulindwa, Steven Kalali ne Anthony Asiimwe. Bano baasinzidde ku nsonga y'okubeera nga mukyala mukulu (wa myaka73), munnabyabufuzi omugundiivu nga yaliko minisita era y'omu ku beetaba mu kukola Ssemateeka wa Uganda owa 1995.

Baategezezza ng'amaka ge bwe gamanyiddwa nga gali Luzira Lake Drive nga gatwalibwa kkooti eno. Bannamateeka era baategeezezza kkooti nti, nga June 23, 2026 amaka ge e Luzira gaalumbibwa abantu ne bagayingira ku mpaka wabula tebaamusangayo kyokka omwami we bwe yamutegeeza n'abaako mu mikwano gye gye yeekweka kyokka nabo baalumbibwa.

Yakwatiddwa nga June 28, 2026 ne bamukuumira mu kifo gye yaggyibwa okutwalibwa mu kkooti. Omuwaabi wa Gavumenti, Mariam Kluthum yawakanyizza okweyimirirwa kwa Matembe n'agamba nti engeri gye yadduka mu maka ge balabika amaka tegamanyiddwa.

Yawakanyizza n'abantu be yaleese okumweyimirira nti ennamba zaabwe tezaabadde mu mannya gaabwe.

Tags: