Amawulire

Mmengo eyisizza embalirira ya Buwumbi 409 ey'omwaka gwa 2026/2027

BUGANDA eyisizza bajeti ya 409 mu mwaka gwa 2026/2027 ng’eno eruubirira okusitula omutindo gw'ebyo ebikolebwa mu nkulaakulana.

Katikkiro ng'ayogera mu lukiiko
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

BUGANDA eyisizza bajeti ya 409 mu mwaka gwa 2026/2027 ng’eno eruubirira okusitula omutindo gw'ebyo ebikolebwa mu nkulaakulana.

Bajeti eno eyanjuddwa Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa eri olutuula lw’olukiiko lwa Buganda olutudde olunaku lwa leero  e Bulange nga yalinnye ebitundu 34 ku 100 ku mbalirira y’omwaka oguwedde eyali ey’ensimbi 305,502,820,947/-

Embalirira eno egenda kutambulira wansi w’omulamwa “Situla omutindo: Okulinnyisa omutindo n’obukugu mu mirimu mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko”.

Akulira eggwanika lya BUganda Waggwa Nsibirwa ng'atuuka okusoma bajeti

Akulira eggwanika lya BUganda Waggwa Nsibirwa ng'atuuka okusoma bajeti

Nsibirwa agambye nti zino zigenda kuva mu Bannamikago 48,000,000,000/-, okutandikawo amakolero 20,000,000/- muno mulimu okutandikawo ekkolero ly’ebikamula ebibala n’amazzi e Bulemeezi, 34,500,000,000/- zisuubirwa okuva mu gavumenti eyawakati ng’esasula kw'ezo Obwakabaka zebugibanja, ebibiina by’obwegassi  bisuubirwa okuvaamu 88,594,583,434/-, 28,085,154,535/- zaakuva mu mattendekero g’Obwakabaka, Ettaka lisuubirwa okuvaamu 36,600,000,000/-, Mwanyi Terimba Ltd 16,445,287,804/-, Bucadef 1,706,727,359/-, obusuulu okuva mu bizimbe 2,017,228,211/-.

Endala zakuva mu kutunda satifikeeti, ebbaluwa n’ebirala 9,897,315,695/-, Ebyempuliziganya n’amawulire 21,070,624,718/-, Obutala bwa Kabaka busuubirwa okuvaamu 567,165,500/-, ensimbi okuva mu masaza 9,354,216,194/-, Eby’obulambuzi 1,671,606,228/-, Abanywanyi Obwakabaka bebukola nabwo emirimu 12,142,979,038/-.

“Ensasanya ya 2026/2027 esuubirwa okubeera ya 409,138,444,275/-, Ebimu ku bigenda okussibwako essira kuliko eby’obulimi n’obwegassi 87,094,915,004/-, okwekulakulanya n’okusiga ensimbi 92,373,229,000/-, okuddukanya emirimu mu Nkuluze 26,626,713,660/-, okutumbula ebyenjigiriza 28,242,272,412/-, okutumbula eby’obulamu 6,111,000,000/-,” Nsibirwa bweyasomye.

Waggwa Nsimbirwa ng'ayogera mu lukiiko

Waggwa Nsimbirwa ng'ayogera mu lukiiko

EBIGENDA OKUKOLEBWA:

Mu by’obulamu, omwaka guno amalwaliro okuli Nyenga- Kyaggwe ne Mukungwe- Buddu gasuubirwa okuggulwawo, okutwala mu maaso kaweefube w’okulwanyisa mukenenya, okuteekateeka ensisira z’ebyobulamu, okutuusa obuwereeza eri abantu ababeera ku bizinga.

Mu by’enjigiriza, Obwakabaka bugenda kuzimba ekizimbe eky’omulembe ku Muteesa I Royal Yunivasite, okubaga ku nteekateeka y’amassomero asatu aga siniya ag’omulembe, okusitula omutindo gw’ettendekero lya Kasawo Institute of Business anad Technical education e Kyaggwe.

Okuzimba ennyumba z’abawereeza mu Bwakabaka eza kibanjampola, okutumbula amakolero g’ebyobulimi ng’Obwakabaka butegese okukolagana n’ebitongole ebirina obumayirivu okutandikawo ekkolero ery’omulembe e Bulameezi erikola amazzi n’okukamula omubisi gw’ebibala ng’ennanansi n’emiyembe.

Okutandikawo ekifo ky’emyoleso gy’amakkolero g’ebyobulimi (Buganda agriculatural industrial and Exhibition Park) nga kigenda kubeera e Jjeza- Mawakota, okusikiriza abalimi n’abalunzi okwetanira yinsuwa y’ebyobulimi n’obulunzi, okutandikawo ‘Buganda Data Vault’ okukolanga ekkunganyizo ly’ebibalo, ebiwandiiko n’ensonga ez’enkizo ezikwata ku Bwakabaka.

Olukiiko luno lwakubiriziddwa Omukubirizza waalwo, Patrick Mugumbule era Nsibirwa yategezezza ng’embalirira y’omwaka oguwedde bweyatambula obulungi kubanga wegwereddeko ng’obuwumbi 320 zezayingiziddwa okuva ku 305 ezaali zaabalirirwa.

Ababaka abatuuka ku kabondo ka Buganda nga bakyadde e Mmengo

Ababaka abatuuka ku kabondo ka Buganda nga bakyadde e Mmengo

MAYIGA ASABYE GAVUMENTI:

Mu kwogerako eri abakiise b’olukiiko luno, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yazzeemu okusaba gavumenti eyawakati okulaba ng’eggwnaga litambulira ku mateeka, abantu abagambibwa okuzza emisango bakwatibwe mu mateeka okusinga okuwambibwa ate oluvanyuma lw’ekiseera ekigere batwalibwe ku kkooti.

“Kabaka gyaali mulamu era alamula Obuganda. Ekiseera kino enteekateeka z’okujjaguza amatikkira ge ag’omulundi ogwe 33 zigenda mu maaso ng’omukolo omukulu gwakubeera ku kanisa ya Watoto e Bweyogerere, Obuganda busabibwa okwenyigira mu nteekateeka zino,” Mayiga bweyagambye.

Minisita w’olukiiko ne Kabineeti, Naoh Kiyimba yasomye ebiteeso ebyayisiddwa okuli okwaniriza enteekateeka ezikolebwa okujjaguza amatikkira ga Kabaka aga 33, okukaatiriza obwetavu bw’okutambuliza Uganda ku nfuga etambulira ku mateeka, okwaniriza embalirira ya 2026/2027 ate n’enteekateeka zonna ez’enkulakulana ezayanjuddwa omuwanika Nsibirwa ate n’okuyisa bajeti eya 2026/2027.

Olukiiko luno lwetabiddwamu Bannaddiini okwabadde Ssabasumba w’Eklesia y’Abasodokisi Metropolitan Jeronymos Muzeeyi, Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere, Bannabyabufuzi okwabadde Baminisita mu gavumenti eyawakati, Judith Nabakooba ow’ettaka, Migadde Nduggwa nga ye mubeezi ow’ebyenvuba, akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi n’ababaka ba Palamenti bangi, Abataka abakulu b’ebika abakaulembeddwamu omukubiriza waabwe Augustine Kizito Mutumba, Omulangira David Kintu Wasajja n’Omumbejja Christine Nabanakulya.

Tags: