Amawulire

Pulezidenti Museveni asuuzizza Kabanda ogufo gw'obwakamiisona wa NRM!

OMUBAKA David Kabanda, Gen. Muhoozi Kainerugaba gw’abadde yaakakubagiza n’ekifo eky'okukulira ofiisi ya ssentebe w’ekisinde kya PLU, ali mu kiyongobero oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okumugugumbula n’amusuuza ogufo ogusava ogw’obwakamiisona!

Pulezidenti Museveni asuuzizza Kabanda ogufo gw'obwakamiisona wa NRM!
By: Musasi waffe, Journalist @New Vision

OMUBAKA David Kabanda, Gen. Muhoozi Kainerugaba gw’abadde yaakakubagiza n’ekifo eky'okukulira ofiisi ya ssentebe w’ekisinde kya PLU, ali mu kiyongobero oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okumugugumbula n’amusuuza ogufo ogusava ogw’obwakamiisona!

 

Erinnya lya Kabanda lyabadde litwaliddwa mu lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko olwa CEC ng’asembeddwa okubeera omu ku bakamiisona abasatu aba NRM mu Palamenti , kyokka ensonda zaategeezezza nti Pulezidenti Museveni olwawulidde erinnya Kabanda, emitaafu ne gimujja mu kyenyi n’agamba nti kikafuuwe!

Kabanda ne Among nga bakyazibonga

Kabanda ne Among nga bakyazibonga

Ensonda zaatutegeezezza nti olukiiko lwatandise nga nnampala wa Palamenti Dr. Jane Ruth Achieng, ayanjula amannya g’abantu abaateekamu okusaba kwabwe nga beegwanyiza obwakominsona.

 

Erinnya lya Kabanda, omubaka w’e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende lye lyabadde likulembedde waggulu.

 

Ensonda zigamba nti Pulezidenti Museveni olwaliwulidde, n’ava mu mbeera n’alagira Kabanda agyibweko mangu, kubanga si muntu mulambulukufu mu ngeri gy’akolamu emirimu.

Kigambibwa nti yamugeraageranyizza ku Michael Katungi, ali mu kuwerennemba n’emisango egyekuusa ku kukusa emmundu, era nga America eyagala Uganda emuweeyo bamutwale awozesebwe mu America.

Pulezidenti Museveni kigambibwa nti ye yasuuzizza Kabanda ogufo.

Pulezidenti Museveni kigambibwa nti ye yasuuzizza Kabanda ogufo.

Katungi naye yali mukungu ng’atuula ku lukiiko lwa PLU olw’oku ntikko, kyokka yawummuzibwa oluvanyuma lw’erinnya lye okuwulikikibwa mu mivuyo.

 

Ensonda zaatutegeezezza nti akola nga minisita w’ensonga ez’ebweru era omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda Haruna Kyeyune Kasolo yagezezzaako okuwolereza Kabanda ng’agamba nti ekitundu kya Buganda kyetaaga nakyo okulowoozebwako, kyokka Pulezidenti n’agaana.

 

Gye byaggweredde, ng’olukiiko lulonze abakazi basatu ku bwa kaminsona, okuli Susan Jolly Abeja (Mukazi/Otuke), Nakut Faith (mukazi/Napak) ne Jesica Ababiku (Mukazi/Adjumani).

 

Abalondeddwa bagenda kwegattibwako John Baptist Nambeshe (Manjiya) eyalondebwa aba NUP ku bwa Kaminisona okudda mu bigere bya Mathias Mpuuga , okubakiikirira ku lukiiko luno.

Bano NRM beeronze bazze mu bigere bya Solomon Silwany, Prossy Akampulira Mbabazi ne Esther Afoyochan ababadde bakamisona okumala ebisanja biri nga bano ne Mpuuga banoonyerezebwa olw’ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 700 ze baafuna ng’akasiimo.

 

Ekifo kya Kamiisona kye kimu ku bisava mu Palamenti ng’olukiiko lw’aba kaminsona lwe lukiiko oluddukanya Palamenti, era lwe lusalawo emisaala, ensako z’ababaka, ne ssente eziddukanya Palamenti engeri gye bitemebwatemebwa.

Tags:
Amawulire
Kabanda
Museveni
Pulezidenti Museveni
Kamiisona
PLU
Muhoozi Kainerugaba