OMUBAKA David Kabanda, Gen. Muhoozi Kainerugaba gw’abadde yaakakubagiza n’ekifo eky'okukulira ofiisi ya ssentebe w’ekisinde kya PLU, ali mu kiyongobero oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okumugugumbula n’amusuuza ogufo ogusava ogw’obwakamiisona!

Kabanda ne Among nga bakyazibonga
Ensonda zaatutegeezezza nti olukiiko lwatandise nga nnampala wa Palamenti Dr. Jane Ruth Achieng, ayanjula amannya g’abantu abaateekamu okusaba kwabwe nga beegwanyiza obwakominsona.
Erinnya lya Kabanda, omubaka w’e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende lye lyabadde likulembedde waggulu.
Ensonda zigamba nti Pulezidenti Museveni olwaliwulidde, n’ava mu mbeera n’alagira Kabanda agyibweko mangu, kubanga si muntu mulambulukufu mu ngeri gy’akolamu emirimu.
Kigambibwa nti yamugeraageranyizza ku Michael Katungi, ali mu kuwerennemba n’emisango egyekuusa ku kukusa emmundu, era nga America eyagala Uganda emuweeyo bamutwale awozesebwe mu America.

Pulezidenti Museveni kigambibwa nti ye yasuuzizza Kabanda ogufo.
Katungi naye yali mukungu ng’atuula ku lukiiko lwa PLU olw’oku ntikko, kyokka yawummuzibwa oluvanyuma lw’erinnya lye okuwulikikibwa mu mivuyo.
Ensonda zaatutegeezezza nti akola nga minisita w’ensonga ez’ebweru era omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda Haruna Kyeyune Kasolo yagezezzaako okuwolereza Kabanda ng’agamba nti ekitundu kya Buganda kyetaaga nakyo okulowoozebwako, kyokka Pulezidenti n’agaana.
Gye byaggweredde, ng’olukiiko lulonze abakazi basatu ku bwa kaminsona, okuli Susan Jolly Abeja (Mukazi/Otuke), Nakut Faith (mukazi/Napak) ne Jesica Ababiku (Mukazi/Adjumani).
Abalondeddwa bagenda kwegattibwako John Baptist Nambeshe (Manjiya) eyalondebwa aba NUP ku bwa Kaminisona okudda mu bigere bya Mathias Mpuuga , okubakiikirira ku lukiiko luno.
Bano NRM beeronze bazze mu bigere bya Solomon Silwany, Prossy Akampulira Mbabazi ne Esther Afoyochan ababadde bakamisona okumala ebisanja biri nga bano ne Mpuuga banoonyerezebwa olw’ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 700 ze baafuna ng’akasiimo.
Ekifo kya Kamiisona kye kimu ku bisava mu Palamenti ng’olukiiko lw’aba kaminsona lwe lukiiko oluddukanya Palamenti, era lwe lusalawo emisaala, ensako z’ababaka, ne ssente eziddukanya Palamenti engeri gye bitemebwatemebwa.