KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abali mu gavumenti okufuba okulaba ng'ensi etambulira ku nfuga etambulira ku mateeka.
Mayiga agambye nti abantu abakwatibwa awatali kugoberera mateeka Kijja kutiisa bamusigansimbi okuva ebweru okuleeta kuno ssente .

Katikkiro ng'abuuza ku bantu mu lukiiko lwa Buganda
Bino abyogeredde mu Lukiiko lwa Buganda olutudde e Bulange -Mmengo olutudde okwanjula embalirira y'Obwakabaka 2026/2027.
Olukiiko luno lukubiriziddwa Omukubiriza waalwo Patrick Mugumbule.

Joel Senyonyi ng'abuuza ku akulira eggwanika lya Buganda
Bannabyabufuzi bangi okuli Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi, Minisita omubeezi ow'ebyobuvubi Migadde Ndugwa, Sarah Najjuma Omubaka omukyala owe Nakaseke, Zambaali Bulasio Mukasa owe Nansana Munisipaali, David Kalwanga owe Busujju, Luyimbaazi Nalukoola owa Kawempe North n'abalala.

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku bannaddiini