Amawulire

Katikkiro Mayiga asabye abali mu Gav't ya wakati eggwanga okulitambuliza ku nfuga ya ssemateeka

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abali mu gavumenti okufuba okulaba ng'ensi etambulira ku nfuga etambulira ku mateeka.    

Katikkiro Mayiga ng'ayogera eri abakiise mu Lukiiko lwa Buganda
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abali mu gavumenti okufuba okulaba ng'ensi etambulira ku nfuga etambulira ku mateeka. 
Mayiga agambye nti abantu abakwatibwa awatali kugoberera mateeka Kijja kutiisa bamusigansimbi okuva ebweru okuleeta kuno ssente . 

Katikkiro ng'abuuza ku bantu mu lukiiko lwa Buganda

Katikkiro ng'abuuza ku bantu mu lukiiko lwa Buganda

Bino abyogeredde mu Lukiiko lwa Buganda olutudde e Bulange -Mmengo olutudde okwanjula  embalirira y'Obwakabaka 2026/2027.

Olukiiko luno lukubiriziddwa Omukubiriza waalwo Patrick Mugumbule. 

Joel Senyonyi ng'abuuza ku akulira eggwanika lya Buganda

Joel Senyonyi ng'abuuza ku akulira eggwanika lya Buganda

Bannabyabufuzi bangi okuli Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi, Minisita omubeezi ow'ebyobuvubi Migadde Ndugwa, Sarah Najjuma Omubaka omukyala owe Nakaseke, Zambaali Bulasio Mukasa owe Nansana Munisipaali, David Kalwanga owe Busujju, Luyimbaazi Nalukoola owa Kawempe North n'abalala. 

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku bannaddiini

Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku bannaddiini

Bannaddiini okuli Ssabasumba w'Eklesia y'Abasodokisi Metropolitan Jeronymos Muzeeyi, Ssabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere, Supreme Mufti Sheikh Mohammad Galabuzi n'abalala beetabye mu Lukiiko luno. 
Olukiiko lugenda mu maaso n'okuwuliriza Omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa nga Kati alambulula ebikoleddwa mu myaka esatu egiyise
Tags: