Amawulire

Poliisi eyodde 315 mu bikwekweto e Katwe, Kajjansi, Nateete ne Nansana

Kiddiridde abatuuze n'abasuubuzi okwemulugunya ku bubbi bw'okubateega mu makubo, okubayingirira mu mayumba, n'okubasikambulako amasimu n'obusawo nga beeyambisa pikipiki.

Poliisi eyodde 315 mu bikwekweto e Katwe, Kajjansi, Nateete ne Nansana
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 315 be bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa e Katwe, Kajjansi, Nateete ne Nansana.

Ebiragala bye baabakutte nabyo.

Ebiragala bye baabakutte nabyo.

Kiddiridde abatuuze n'abasuubuzi okwemulugunya ku bubbi bw'okubateega mu makubo, okubayingirira mu mayumba, n'okubasikambulako amasimu n'obusawo nga beeyambisa pikipiki.

E Katwe, Nateete, Kajjansi ne CPS, mu kikwekweto ekikoleddwa okuva ku ssaawa 4:00 ez'ekiro okukeesa obudde, kiyodde 280.

Abamu ku bantu abaayooleddwa.

Abamu ku bantu abaayooleddwa.

Kigambibwa nti abamu babasanze n'ebiragala, ebintu ebirowoozebwa okuba ebibbe n'ebyuma ebyeyambisibwa okumenya amayumba.

E Nansana mu kikwekweto ekiyindidde e Katooke, Nabweru, Kyebando ne Yesu Amara bakutteyo 35.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti bikyagendera ddala mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kikwekweto
Kuyoola