Amawulire

Ekikwekweto kiyodde abavubuka 69 abateeber­ezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

POLIISI mu Kampala n’emiriraano ekoze ebik­wekweto mw’ekwatidde abavubuka 69 abateeber­ezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Ekikwekweto kiyodde abavubuka 69 abateeber­ezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

POLIISI mu Kampala n’emiriraano ekoze ebik­wekweto mw’ekwatidde abavubuka 69 abateeber­ezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

 

Ebikwekweto bino bya­koleddwa mu kiro ekya­keesezza Olwokusatu nga byakoleddwa poliisi ya Kampalamukadde, Mukono ne Kira Division.

 

Abaakwatiddwa kigambibwa nti babadde bateega abantu nad­dala abava okukola ne babanyagako ebyabwe wamu n’okwenyigira mu kukommonta enjaga.

Abamu ku bavubuka abaayooleddwa.

Abamu ku bavubuka abaayooleddwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti ebikwekweto bino bya­koleddwa oluvannyuma lw’okufuna okwemulugu­nya okuva mu bantu mu bitundu eby’enjawulo.

 

Yagambye, poliisi ya Kampalamukadde yas­indise abaserikale baayo ne bakola ekikwekweto ku Musajjalumbwa ne Lubaga Road gye baak­watidde abavubuka 14.

 

E Mukono, poliisi yakoze ekikwekweto mu kitundu ky’e Kirangira n’ebitundu ebiriraany­eewo mwe yakwatidde abantu 23. Ebitundu mwe kyakoleddwa byebyo ebimanyiddwa okubeeramu abamenyi b’amateeka nga gye basinziira ne batigomya abantu n’okunywerayo enjaga.

 

 

Ate mu Kira Division, ekikwekweto kyakoled­dwa mu bitundu okuli; Kireka, Kiganda, Namu­gongo era abavubuka 32 be baakwatiddwa. Yagambye nti ebik­wekweto biyambye okukendeeza ku bu­menyi bw’amateeka mu bitundu.

Tags:
Amawulire
Kampala
Miriraano
Mateeka
Bikwekweto