Amawulire

Saleh alabudde abakulembeze ku mivuyo gy'ettaka

GEN. Salim Saleh alabudde abakulembeze abasusse okwekobaana ne banyigiriza abantu ku ttaka ekivuddeko Banayuganda bangi okubundabunda mu nsi yaabwe.

Baminisita Balaam ne Nabakooba mu kuggulawo ofiisi y'ebyettaka e Matugga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GEN. Salim Saleh alabudde abakulembeze abasusse okwekobaana ne banyigiriza abantu ku ttaka ekivuddeko Banayuganda bangi okubundabunda mu nsi yaabwe.
Obubaka buno yabutisse minisita w'ebyettaka, Judith Nabakooba bwe baabadde baggulawo ofiisi egenda okuyambako okulondoola ensonga z'ettaka mu ggwanga. Ofiisi eno etuumiddwa Land Manangement Centre nga eteereddwa e Matugga mu divizoni y'e Gombe mu munisipaali y'e Nansana.

Ofiisi eno Gen. Saleh ye yagiwomyemu omutwe n'ekigendererwa eky’okukendeeza obubbi bw'ettaka obukudde ejjembe mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu.
Nabakooba yasiimye eky'okuggulawo ofiisi eno, n'agamba nti ebitundu bingi enkola eno gy'ebadde, abantu bamala ne bateeseganya ne batuuka ku kukkaanya nga tebagenze mu kkooti.
Haji Nadduli naye yagambye nti, abakulembeze aba wansi be basinze okusiba wano emivuyo gy'ettaka naddala bassentebe b'ebyalo abassa emikono ku ndagaano ezisukka mw'emu ku ttaka lye limu. N'agattako nti, abamu endagaano bazisayiningira mu ofiisi ne batamanya ttaka ki eritundibwa.
RDC Charles Lwanga yagambye nti, mu munisipaali y'e Nansana obubbi bw'ettaka bususse kuba abalibba balina amaanyi ne ssente era baziteeka mu buli ofiisi okutuukiriza ebigendererwa byabwe.
N'agamba nti, afubye okulwanirira abantu naye afuna amasimu agamutiisatiisa okuva mu ofiisi ezimusingako.
Mininista Balaam yasuubizza okulondoola abakozi ba Gavumenti mu ofiisi z’ebyettaka okumanya abakola emirimu gadibengalye bakwatibwe.
Omukolo gwetabiddwaako minisita wa Gavumenti ez'ebitundu, Balaam Barugahara, akulira okulwanyisa obubbi bw'ettaka Gen. Moses Lukyamuzi, omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda Hajji Abdul Nadduli, Meeya wa divizoni y'e Gombe, Hawa Mbabazi, RDC wa munisipaali y'e Nansana Charles Lwanga, n’abalala.

Tags: