Amawulire

Ekitutte omumyuka wa Pulezidenti ne baminisita 8 e Mmengo

OMUMYUKA wa Pulezidenti, Maj. Jessica Alupo akulembeddemu baminisita 8 okugenda e Mmengo gye basisinkanye Katikkiro wa Buganda, Peter Mayiga ne bamukwasa obubaka obw'enjawulo Pulezidenti Museveni bw'aweerezza Kabaka.

Katikkiro Mayiga ng'akutte mu ngalo z'omumyuka wa Pulezidenti, Rt. Maj. Jessica Alupo. Ku ddyo; baminisita ba Buganda n'abamyuka ba Katikkiro.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUMYUKA wa Pulezidenti, Maj. Jessica Alupo akulembeddemu baminisita 8 okugenda e Mmengo gye basisinkanye Katikkiro wa Buganda, Peter Mayiga ne bamukwasa obubaka obw'enjawulo Pulezidenti Museveni bw'aweerezza Kabaka.
Maj. Alupo yakulembeddemu baminisita 8: Haruna Kyeyune Kasolo (Nsonga Ez'ebweru, Hajjat Minsa Kabanda (Kampala), Judith Nabakooba ( byattaka), Milly Babalanda (nsonga z'Obwapulezidenti), Persis Namuganza (mayumba n'enkulaakulana y'ebibuga), Diana Mutasingwa (ofiisi y'omumyuka wa Pulezidenti), Migadde Ndugwa (buvubi), Justine Nameere (Gavumenti ezeebitundu) ne Mercy Faith Lakisa (Bavubuka)

Alupo yatuuse mu Bulange ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo ng'aggumidde mu busuuti n'ayanirizibwa Katikkiro Mayiga eyabadde n'omumyuka we asooka, Polof. Twaha Kaawaase, Sipiika w'olukiiko lwa Buganda Patrick Mugumbule ne baminisita ba Ssaabasajja abawerako.
Guno gwe gwabadde omulundi gwa Alupo ogusoose okukyalako e Mmengo era olw'okunyuma obulungi, mu ggomesi Mayiga yamuwadde erinnya erya Namakula.
EBYABADDE MU BUBAKA
Alupo yakwasizza Katikkiro Mayiga ekitabo Pulezidenti Museveni kye yatonedde Kabaka ekikwata ku nkyukakyuka n'enkulaakulana y'ensi.
Mu bubaka Museveni bwe yasindise e Mmengo mulimu okweyama okwogerezeganya n'Obwakabaka okutumbula enkulaakulana mu bantu n'okuleetawo emirembe n'obutebenkevu mu ggwanga.
Okutuukiriza bino, Alupo yagambye nti Museveni waakubiyisa mu ngeri bbiri;
"Pulezidenti asaba nti Katikkiro okuyita mu Kabaka, otegeke Abaami ku mitendera gyonna mu Bwakabaka, afune obudde n'olunaku abasisinkane okwogera ku nsonga ez'enjawulo ezitwala Buganda ne Uganda mu maaso," Alupo bwe yatuusizza obubaka eggulo ku Lwokubiri.
Museveni yagambye nti, ensisinkano ey'Abaami bw'eneggwa, olwo ayite olukiiko lw'abakulembeze ab'ennono bonna mu Uganda.
"Ku mulundi ogwo ajja kusisinkana abakulembeze bennyinni ab'oku ntikko mu bukulembeze buno. Ayagala okubasisinkana okwogerako nabo ku biseerabya Uganda eby'omu maaso," Alupo bwe yaegeezezza.
Ku lulwe, Alupo yeebazizza Obwakabaka olw'enteekateeka ez'enkulaakulana ze buwomyemu omutwe omuli okukunga abantu ne bajjumbira okulima emmwaanyi, okulwanyisa endwadde n'endala eziruubirira okusitula omuntu wa wansi.
"Ku lwange, nneebaza Obwakabaka olw'okwanirizanga abantu bonna era ndi mu mujulizi ku ngeri abantu ba Buganda gye mwanirizaamu abantu mu bitundu byonna ebya Buganda," Alupo bwe yagambye.
MAYIGA ASABYE
Katikkiro Mayiga yasabye Alupo ne baminisita okuyamba ku Pulezidenti okutuukiriza ekiruubirirwa kye mu kisanja kino okulwanyisa enguzi gye yayogeddeko nga nnamujinga akonzibizza enkulaakulana ya Uganda.
"Nasanyuka nnyo okuwulira nti Pulezidenti yeeyamye okulwanyisa enguzi. Mumuyambe kino kituukirire, nga mukiteekesa mu nkola mubonereze abanene abakwata mu nsimbi z'omuwi w'omusolo. Bwe munaatandikira ku kubonereza abanene, abatono bajja kutya okubulankanya ebintu bya Gavumenti ," Mayiga bwe yawabudde. Yanokoddeyo byasoma mu mpapula z'amawulire ku bikwata ku luguudo lwa Busega-Mpigi Expressway n'agamba nti abantu abasangibwa mu mivuyo ng'egyo babonerezebwe.
Katikkiro eyabadde ne baminisita ba Kabaka bonna mu nsisinkano eno, yasabye Gavumenti etereeze entambula y'olukale mu Kampala n'ebitundu ebirala. N'agamba nti, abantu bookya amafuta mu kutambula olugendo olwandibadde olw'eddakiika ne lufuuka olw'essaawa. Yawadde ekyokulabirako kya musigansimbi omu eyava e Bungereza ng'agenda e Ssese gwe yagambye nti, yatambula essaawa munaana okuva e Bungereza okutuuka kuno ate n'atambulira essaawa munaana okugenda e Ssese n'atuukayo nga yeetamiddwa.
Babalanda yagambye nti, minisitule ye nneetegefu okukolagana n'Obwakabaka okulaba ng'obuwereeza butuuka ku buli muntu kubanga Gavumenti eya wakati n'Obwakabaka baweereza abantu be bamu.

Tags: