Amawulire

Minisita omubeezi owa Gav't ez'ebitundu Justine Nameere ayagala Gav't erangirire Public Holiday ku lunaku lw'okulonda bassentebe b'ebyalo

MINISTA omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu Justine Nameere asabye palamenti olunaku lw'okulonda ba ssentebe be byalo lufuulibwe olunaku olw'okumula kisobozese abantu okugenda mu byalo byabwe okwetaba mu kulonda kuno. 

Minisita omubeezi owa Gav't ez'ebitundu Justine Nameere ng'awaayo okusaba kwe mu Palamenti
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Aminah Shakirah Nalugo

MINISTA omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu Justine Nameere asabye Palamenti olunaku lw'okulonda ba ssentebe be byalo lufuulibwe olunaku olw'okuwummula kisobozese abantu okugenda mu byalo byabwe okwetaba mu kulonda kuno.


‎Bwabadde asomera palamenti ekiwandiiko ku kulonda ba ssentebe be byalo n'obukiiko bwa bakyala, Nameere asabye ne palamenti egende mu luwummula, kino kisobozesa ababaka okukunga abantu baabwe okwetaba mu kulonda kuno.

‎Amyuka omukubiriza wa palamenti Thomas Tayebwa ategeezezza nti ekiteeso kino agenda ku kileeta enkya mu kakiiko ka palamenti akateekateeka emirimu kikubaganyizibweko ebirowoozo.

‎Nameere era agambye nti wakyaliwo obwetaavu okusomesa abantu ku bukulu bw'okulonda ba ssentebe be byalo n'obukiiko bwa bakyala.

Amyuka Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa ng'akubiriza Palamenti

Amyuka Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa ng'akubiriza Palamenti



‎Minista owa gavumenti ez'ebitundu ku ludda oluvuganya Patrick Okello Onguti (Aswa County) asabye gavumenti ennyonnyole ku buvunanizibwa obutuufu obwa basirikale abaletebwa mu kulonda kuno, era nasaba okusomesa abantu ku kulonda kwa ba ssentebe kutuuke ku byalo ebisembereyo ddala.

‎Kyoka omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa taganyizza babaka kukubaganya birowoozo ku kulonda kwa ba ssentebe, n'ategeeza nti kujja kubaawo enkya nga Ssabalamuzi we ggwanga Dr Flavian Zeija wali.

‎Okulonda kwa ba ssentebe be byalo kwakuberawo nga enaku z'omwezi 28th July 2026 ku buli kyalo ate okulonda ba ssentebe b'emiruka kwa kuberawo nga 10th August 2026 ku buli Kitebe ky'emiruka.
Tags: