EGGULO ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi (ku Lwokusatu), Gavumenti yanunudde Bannayuganda 1,130 mu ggwanga lya South Africa nga bano ebakimiddeyo mu bibinja wabula minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru Haruna Kasolo ategeezezza nti Bannayuganda abaagala okugenda mu ggwanga lino nga balina ebiwandiiko baddembe.
Kiddiridde ekitongole ekirwanyisa abo ababeera mu ggwanga lya S. Africa mu bumenyi bw’amateeka (March and March Group) okuwa nsalessale abo abaaliyo nga tebalina biwandiiko okwamuka eggwanga lyabwe obutasukka June, 30 nga n’ekyaddirira bwali bulumbaganyi na kuboonoonera bintu
Kino kyawaliriza pulezidenti Museveni okulagira minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga , Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja, minisitule y’ebyentambula wamu n’omuduumizi w’amagye okukakasa nga Bannayuganda abaaliyo banunulibwa
Minisita Kasolo yagambye nti ekibinja kya Bannayuganda ekirala kya bantu 250 kyatuuse eggulo ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi era ku Lwokubiri Bannayuganda 880 be baabadde baakaggyibwayo.
Bannayuganda bano yagambye nti ekyabaviiriddeko okugobebwa mu ggwanga lino nga tebeesiikidde kanyeebwa kwe kuba nga babaddeyo mu bumenyi bw’amateeka awatali kiwandiiko kibawa lukusa.
Yayongeddeko nti ababadde beetegese okugenda e South Africa bagende mu maaso, kubanga ekikolwa ekyakoleddwa kinyiga abo baddugavu abatalina biwandiiko era n’ategeeza nti , gavumenti ya S.Africa si y’eri emabega w’ebikolwa bino ekyawuniikirizza ababaka.
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru ow’ekisiikirize Susan Joan Alobo (Soroti City) yasiimye Gavumenti okudduukirira Bannayuganda oluvannyuma n’agisoomooza ennyonnyole lwaki buli ekibinja ekituuka kitwalibwa Kyankwanzi.
Agambye nti ab’enganda z’abantu bano tebamanyi kigenda mu maaso era tebabalabangako nga badiyagadde okumanya ensonga ebakuumisa e Kyankwanzi
Mu kwanukula, Kasolo annyonnyodde nti baazuula nga abantu bano balina okwennyika mu birowoozo nga beetaaga okubudaabudibwa so nga nabo baasaba okusooka okusisinkana pulezidenti Museveni nga tebannasisinkana bantu baabwe.