Amawulire

Bannayuganda bakubiriddwa okwettanira enkola aya 'Yinsuwa'

OKUNOONYEREZA kulaze nti omuwendo gwa bannabizinesi abakozesa yinsuwa gukyali mutono ddala ekintu ekyongedde okuteeka bizinensi z'abangi mu matigga naddala singa obubenje bugwawo.

Bannayuganda bakubiriddwa okwettanira enkola aya 'Yinsuwa'
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OKUNOONYEREZA kulaze nti omuwendo gwa bannabizinesi abakozesa yinsuwa gukyali mutono ddala ekintu ekyongedde okuteeka bizinensi z'abangi mu matigga naddala singa obubenje bugwawo.

Embeera eno yawaliriza kkampuni za yinsuwa okukwataganira awamu ne bbanka ezenjawulo ne batongoza enkola ya yinsuwa empya eyatuumiddwa Car-Tono Katono .

Allan Mafab, akulira kkampuni ya Britam Insurance nga yoomu ku bawomye omutwe mu nkola eno empya yannyonnyodde nti ekigendererwa kwe kwongera okugonza mu nkola eza yinsuwa bannabizinesi basobole okuzettanira era kati omuntu yenna asobola okwefunira yinsuwa ku kibanja mpola ekitegeeza nti osobola okusasula 'car-tono katono'.

Mafabi yalambulude nti muntandikwa batunuulide nnyo abagoba b'ebidduka era kati kyangu kya kwefunira yinsuwa awali nnyo kusika muguwa.

Abagoba b'ebidduka mu Kampala basanyukidde enkola eno empya, bategeezeza nti bulijjo balowooza nti yinsuwa zikozesebwa abo bokka abalina ensimbi ennyingi  so nga ate abalala baagambye nti babadde tebaweebwa kumanya kumala ku ngeri yinsuwa  gy’ekola n’emigaso gyaayo.

Tags:
Yinsuwa