Amawulire

Batadde akazito ku Gav’t ya South Korea okuyimbula omukulembeze w'Ekkanisa ya Shincheonji

Bano bagamba nti singa tekikolebwa, kuba kuyisa lugaayu mu mateeka g'ensi yonna agakwata ku ddembe ly'obuntu, ge bagamba nti gateekwa buteekwa okugobererwa kuba engeri Lee Man-hee (95) gye eyisa olugaayu mu mateeka gano. Ono ne gye buli eno akyali mu kkomera

Batadde akazito ku Gav’t ya South Korea okuyimbula omukulembeze w'Ekkanisa ya Shincheonji
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Mu lukiiko lw'ensi yonna olwetabiddwaamu abakugu ku by'eddiini olwatudde e Rome, lwassizza kimu nga nkuyege okusaba Gavumenti ya South Korea.

 

Bano bagamba nti singa tekikolebwa, kuba kuyisa lugaayu mu mateeka g'ensi yonna agakwata ku ddembe ly'obuntu, ge bagamba nti gateekwa buteekwa okugobererwa kuba engeri Lee Man-hee (95) gye eyisa olugaayu mu mateeka gano. Ono ne gye buli eno akyali mu kkomera

 

Ssentebe Lee yakwatibwa nga 24 June ku misango egyamupaatiikibwako omuli egy’okumenya etteeka erifuga ebibiina by’obufuzi (Political Parties Act), era bw’atyo n’avunaanibwa mu kkooti nga 30 June.

 

Ekitongole by’eby’okwerinda omuli Poliisi n’abawaabi ba gavumenti balumiriza nti Lee wakati wa July 2021 ne January 2024, yalagira okuwandiisa bammemba b’ekkanisa ye abawera nga 50,000 mu kibiina ekimu eky’ebyobufuzi mu South Korea.

 

Mu kwanukula, abakulembeze mu kkanisa ya Shincheonji baategeezezza nti bammemba baayo beenyigira mu by’obufuzi ku lwabwe era mu kwagala nga tabakakiddwa, era nti ssentebe Lee n’ekkanisa baakolagana bulungi n’ebitongole by’eby’okwerinda nga bikola okunoonyereza ku nsonga eyo, omuli n’okwekebejja ebintu ebyetaagisa ng’obujulizi.

 

Nga Ekkanisa, bennyamivu olwa Gavumenti okukuumira ssentebe waabwe Lee mu kkomera ku myaka gye 95, bakiraba ng’ekibonerezo ekigendereddwaamu okunafuya omukelembeze waabwe naddala ng’embeera y’obukadde mu myaka bagibuusizza amaaso.

 

Dr. Massimo Introvigne, dayirekira wa CESNUR ng'ayogera ne bannamawulire

Dr. Massimo Introvigne, dayirekira wa CESNUR ng'ayogera ne bannamawulire

Abakugu mu by’Eddiini bawanda muliro: Batadde akazito ku Gavumenti

 

Abakugu mu by’Eddiini bagamba nti okukuumira nnamukadde Lee mu kkomera ku bigambibwa obugambibwa nga tebinnakakasibwa kikolwa ekimenya amateeka ga nsi yonna!

 

European Academy of Religion (EuARe), omukago ogugatta abakugu mu by’eddiini mu Bulaaya gwatuuzizza olukiiko lwagwo olw’omwenda nga 3 July e Rome mu Italy ng’ensonga ezaasinze okussibwako omulaka za kkanisa ya Shincheonji n’omukulembeze waayo Lee (kati atemeza emabega w’emitayimbwa).

 

Mu lutuula luno olwabadde olw’ebbugumu, lwasimbiddwa ku mulamwa ogugamba nti, Embeera ekkanisa ya Shincheonji gy’erimu, ng’eno ddiini mpya okuva mu Korea,”. Abakugu mu by’eddiini okuva mu mukago gwa Bulaaya era baayanjizza ebiwandiiko, empapula ne kalonda yenna akwata ku Shincheonji Church.

 

Abeetabye mu lukung’aana luno baategeezebwa ku mbeera ezibaddewo gye buvuddeko mu ggwanga lya South Korea, omuli n’oky’okuba nti omukulembeze w’ekkanisa eno, Lee Man-hee ali mu kkomera.

 

Mu lukiiko lwe lumu, Dr. Massimo Introvigne, omunoonyereza ku by’eddiini era omutandisi wa Center for Studies on New Religions (CESNUR), yayogedde ku nsonga y’okukuumibwa kwa ssentebe Lee Man-hee mu kkomera, ng’agamba nti:

 

"Mu mawanga gonna agali mu mukago gwa Bulaaya (European Union), amateeka galagira nti abantu abasukka emyaka 80 tebateekeddwa kuggalirwa mu kkomera okuggyako mu ng’emisango egivunaanibwa gya nnaggomola. Abasukka emyaka 80 basaanidde kukuumirwa mu maka gaabwe (house arrest. N’olwensonga eno, tewali musango gwa butemu oba nnaggomola oguvunaanibwa Lee, kubanga ebivunaanibwa bikwata ku kumenya mateeka agafuga okulonda."

 

Eric Roux, pulezidenti w'ekibiina kya EIFRF ng'ayogera

Eric Roux, pulezidenti w'ekibiina kya EIFRF ng'ayogera

"Engeri South Korea gy’eyisizzaamu omukulembeze w’eddiini ono ow’emyaka 95 emenya amateeka g’ensi yonna, omuli n’amateeka ga Mandela Rules agateekebwawo Omukago gw’Amawanga Amagatte (United Nations). Amateeka gano galambika nti okukuumira omuntu mu kkomera nga tannaba kusalirwa musango tekulina kuba nkola eya bulijjo, wabula kikolebwa mu mbeera ez’enjawulo ennyo, naddala bwe kiba kikwata ku bakadde.

 

N’olwekyo, ekigenda mu maaso kati kya kikolwa kya buswavu, era kiraga nti waliwo obolyawo ekigendererwa okunafuya ekkanisa eno nga beekwese mu by’obufuzi.

 

Eric Roux, omukubiriza w’enkolagana wakati w’amadiini era ssentebe wa European Interreligious Forum for Religious Freedom (EIFRF), eyeetabye mu lukiiko olwo, yennyamidde ku ky’okukuumirwa nnamukadde w’emyaka 95 mu kkomera, n’agamba nti ekikolwa ekyo tekigoberera misingi gya bwenkanya.

 

"Okuteeka omusajja ow’emyaka 95 mu kkomera kiweebula ekitiibwa ky’obuntu. Ne bwe kiba nti byonna bye bamuvunaana bituufu, tekisaaniddea kuteeka muntu wa myaka egyo mu kkomera nga bwe kiri kati.

N’olwekyo, nsaba ensonga eno eddibwemu amangu ddala okusobola okwewala ekintu ekiyinza okwonoona ennyo erinnya lya South Korea. Nsaba, omusajja oyo ayimbulwe mu kkomera era ekyo kikolebwe mu bwangu mangu."

 

Alessandro Amicarelli, ssentebe wa FOB

Alessandro Amicarelli, ssentebe wa FOB

Munnanamateeka agamba okukuumira Lee Man-hee mu kkomera kyennyamiza naddala mu ggwanga eritambulira ku Demokulasiya

 

Munnamateeka alwanirira eddembe ly’obuntu, Alessandro Amicarelli, yalaze obwennyamivu, ng’asinziira ku nnono ya South Korea ey’okutambulira ku demokulasiya. Kinnajukirwa nti Amicarelli ye munnamateeka akkirizibwa okuwoleza emisango mu kkooti Enkulu ez’e England ne Wales, era looya mu ggwanga lya Yitale. Ate era ye ssentebe wa European Federation for Freedom of Belief (FOB)."

 

"Nga munnamateeka alwanirira eddembe ly'obuntu, bulijjo ndowooza nti South Korea ggwanga erinywevu ku misingi gya demokulasiya, nga eddembe ly'obuntu lissibwamu ekitiibwa ng'omusingi gwagwo. Naye ebigenda mu maaso kati byankubye nnyo encukwe. … Tekikkirizibwa nti omukulembeze w'eddiini ow'emyaka 95 mu ggwanga eritambulira ku demokulasiya ayisibwe mu mbeera ng'eno."

"Ebigenda mu maaso kati, … biraga nti South Korea erabika ng’eva ku misingi egyassibwawo mu Ssemateeka waayo n’egy’okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu. N’olwekyo, nsanyuse okuwagira Shincheonji mu kaweefube wammwe ow’okulwanyisa effugabbi n’okuyigganyizibwa mu South Korea ne mu bitundu ebirala eby’ensi."

 

Abakulembedde mu kkanisa ya Shincheonji kye bagamba

 

Ab’ekkanisa ya Shincheonji bagamba nti okukuumibwa kwa Ssentebe Lee Man-hee tekukyali nsonga ya kwekenneenya kwa bannamukago gw’Ediini za Bulaaya bokka, wabula kati kufuuse nsonga ey’okuytoboola eddembe ly’obuntu etunuulirwa ku mutendera gw’ensi yonna.

 

Ebibiina by’ensi yonna ebirwanirira eddembe ly’obuntu, United for Human Rights ne Coordination des Associations et des Particuliers pour la Liberté de Conscience (CAP-LC), nga 25 May byabaze ekiwandiiko eky’awamu mu lutuula olw’e 62 olw’Akakiiko k’Omukago gw’Amawanga Amagatte ku ddembe ly’obuntu (UNHRC), nga biraga okwennyamira olw’engeri eggwanga lya South Korea gye likuttemu ensonga z’ekkanisa ya Shincheonji Church, gye bagamba nti etyoboola eddembe ly’obuntu. Ekiwandiiko ekyo, kibagiddwa mu kawakatirwa A/HRC/62/NGO/236, era ne kisaasaanyizibwa nga 10 June.

 

Abakugu mu by’eddiini okuva mu mukago bwa Bulaaya nga bassa emikono ku kiwandiiko ekisaba Gavumenti ya South Korea okuyimbula ssentebe Lee okuva mu kkomera

Abakugu mu by’eddiini okuva mu mukago bwa Bulaaya nga bassa emikono ku kiwandiiko ekisaba Gavumenti ya South Korea okuyimbula ssentebe Lee okuva mu kkomera

Mu kiwandiiko kyabwe, ebibiina bino byombi byategeezezza nti "embeera yeeyongedde okuba embi" mu South Korea. Bagamba nti okutunuulira okuwandiisibwa kwa bammemba b’ekkanisa mu kibiina ky’ebyobufuzi ng’obujulizi obw’enkolagana wakati w’eddiini n’ebyobufuzi" kikontana n’endagaano y’ensi yonna ku ddembe ly’obuntu n’eby’obufuzi (International Covenant on Civil and Political Rights – ICCPR), ewa buli mutuuze eddembe ery’okwenyigira mu bulamu bw’ebyobufuzi.

 

Ebibiina bino byombi bigamba nti:

 


"Mu December 2025, Pulezidenti wa South Korea yalagira okutandikibwawo ekibinja eky’awamu ekigatta Poliisi n’abawaabi ba Gavumenti, nga kigendereddwamu okunoonyereza ku nsonga ezikwata ku kkanisa ya Shincheonji… Abakungu ba gavumenti ab’oku ntikko baayogedde mu lujjudde nga balumiriza ekkanisa ya Shincheonji okuba ‘ekibiina ky’abamenyi b’amateeka,’ so ng’ebigambo ebyo bikontana n’omusingi gw’amateeka ogugamba nti omuntu talina kutwalibwa ng’omumenyi w’amateeka nga tannavunaanibwa kkooti, ssinakindi okumusingisa omusango.

 

Bongera ne bisaba nti:

 


"Tukubiriza Gavumenti ya South Korea okuddamu okunyweza obweyaamo bwayo ku ddembe ly’okusinza, obutaba na kusosola, n’obutabaako ludda gavumenti lw’ewagira mu nsonga z’eddiini."

 

Aba Shincheonji Church baategeezezza nti, "Ng’okusaba okuva mu bantu ab’enjawulo n’ebitongole eby’amaanyi mu nsi yonna bwe bikyeyongera ku nsonga y’okuggalira omukulembeze waabwe Lee Man-hee, akazito keeyongedde ku Gavumenti ya South Korea wamu n’ekitongole ekiramuzi."

 

Ekkanisa yayongeddeko nti, "Okuyimbula Lee mu bwangu tekikoma ku kuba nsonga emukwatako yekka, wabula kya kukuuma ddembe ly’okusinza n’eddembe ly’obuntu, ebyo ebyombi nga bye bimu ku misingi emikulu egiggyawo demokulasiya."

Tags:
Shincheonji
Lee Man-hee
South Korea