Amawulire

Azirikidde mu kkooti bwe bayimbudde gw’avunaana

OMULAMUZI wa kkooti ento e Kira, Winnifred Agelun asanze akaseera akazibu landiroodi bw’azirikidde mu kkooti bwe yabadde avunaana abafumbo okwesenza mu nnyumba ye n’okujingirira lisiiti.

Arinaitwe nga bamufulumya kkooti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMULAMUZI wa kkooti ento e Kira, Winnifred Agelun asanze akaseera akazibu landiroodi bw’azirikidde mu kkooti bwe yabadde avunaana abafumbo okwesenza mu nnyumba ye n’okujingirira lisiiti.
Denis Arinaitwe ow’e Kireka D gy’alina enju z’abapangisa yaddukira mu kkooti n’aloopa Francis Otayi (43) ne Mary Adongo (30) olw’okwesenza ku nju ye okuva mu October wa 2025 nga tabakkirizz n’okujingirira lisiiti eziraga nti bamusasula kwossa okumupaatiikako emisango egy’enjawulo. Abawawaabirwa emisango baagyegaanyi.

Omuwaabi wa Gavumenti yategeezezza kkooti nga fayiro emu bw’etennaleetebwa kuva ku poliisi n’asaba omusango gwongezebweyo. Wano abawawaabirwa we baasabidde bayimbulwe ku kakalu badde awaka basange abaana nga Adongo yasibwa n’omwana gw’ayonsa. Bagamba n’abantu abandibeeyimiridde bali mu byalo tebalina ngeri yaakubategeeza.
Omulamuzi yategeezezza ng’okuwa omuntu akakalu ka kkooti bwe kiri mateeka wabula abavunaanwa balina okuleeta ababeeyimirira n’ategeezanti olw’okuba Adongo ayonsa, agenda kumuta ku kakalu wabula alina okuwaayo ebimukwatako n’okubuulira kkooti gy’agenda okuviira ng’omusango gugenda maaso. Arinaitwe yabadde asabye baleme kubata nti ne bwe baba bayimbuddwa tebadda ewuwe kuba obulamu bwe buli matigga.
Adongo yalemedde ku ky’okudda mu nju ya Arinaitwe kuba yamusasula ssente kyokka omulamuzi n’amutegeeza nga bwe kitasoboka, afune gy’abeera ng’omusango bwe guwulirwa.
Wabula bino byabadde tebinnassibwa mu nkola, Arinaitwe n’agwa mu kkooti n’azirika ekyaleseewo embeera enzibu okutuusa bwe baamuyoddeyodde ne bafulumya.
Arinaitwe yategezezza nti mu misango gyonna, omukazi ye mutwe nga singa adda ebweru, waakwongera okumukolako effujjo. Arinaitwe yawandiikira dda kkooti eyise ekiwandiiko ekigoba abantu bano mu nnyumba ye. Omulamuzi yamuwabudde aloope mu kkooti y’engassi (Civil Court) n’asaba omuwaabi wa Gavumenti okuyamba ku Arinaitwe akole ku nsonga ze amufunire munnamateeka amuyamba.
Ssentebe wa Kireka D, William Kibira yategeezezza nti abafumbo bano tebamanyiddwa ku kitundu nga batuula mu nsonga zaabwe naye ne zibalema kwe kuzongerayo

Tags: