Amawulire

Ssebattaeyabbyeakasimu asimattuse

OMUVUBUKA agambibwa okuba omubbi lukulwe e Kazo akubiddwa mizibu ku bigambibwa nti yabbye essimu y’omutuuze bwe yeefudde kasitoma ayagala ekyemisana kyokka n’abulawo n’essimu ya nnannyini kirabo kya mmere.

Ssentebe Kiyimba ng’akutte ku Ssebatta.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUVUBUKA agambibwa okuba omubbi lukulwe e Kazo akubiddwa mizibu ku bigambibwa nti yabbye essimu y’omutuuze bwe yeefudde kasitoma ayagala ekyemisana kyokka n’abulawo n’essimu ya nnannyini kirabo kya mmere.
Fred Ssebatta ye yasimattuse okugajambulwa abatuuze ba Kazo Central mu Nansana bw’akwatiddwa ku bigambibwa nti yabbye essimu nagikweka mu kisweta kye yabadde nakyoera olwamututte ku LC, ne bamwongerayo ku poliisi.

Kigambibwa nti Ssebatta yeefuudde ayagala ekyemisana mu kirabo ky’emmere kya Catherine Nakiberu kyokka bwe baamugambye nti ekyemisana tekinnaggya kwe kusalawo atuule akirinde nga wano we yalabirizza essimu ya Nakiberu n’agikweka mu kisweta nga yakwatiddwa afuluma.
Nakiberu yategeezezza nga bwe gwabadde omulundi ogusoose okulaba Ssebatta nga yamwekengedde era yagenze okutunula essimu ye we yabadde nga teriiwo kwe kukuba enduula abatuuze ne bakung’aana.
Ssebatta eyabadde awulubadde, yeegaanyi okubba essimu n’agamba yalekera awo era bamuwaayiriza. Yasabye asonyiyibwe aleme kutwalibwa ku poliisi.

Tags: