KCCA esitukidde mu bagagga ababadde bagabanye poloti z’ekibangirizi kya Centenary Park ku luguudo lwa Jinja Road nga bazimbamu amaduuka n’obusaawe mu bukyamu.
Omwogezi wa KCCA, Daniel NuweAbine yagambye nti, wabaddewo azimbye akayumba akaliko amaduuka, omulala ng’ataddewo akasaawe omuzannyirwa emizannyo n’omupiira ate omu ng’azimbye ekifo awaliirwa emmere n’ebbaala.
“Twamenye ebifo 3 ate tukyagenda mu maaso n’okuyigga abazimba mu ngeri eyo nga tebakkiriziddwa,” NuweAbine bwe yalabudde.
Ebifo byamenyeddwa ku Lwokutaano wakati mu kulaajana okuva mu bannannyini byo nti babafiirizza ssente kubanga awo baludde nga be bannannyini wo era ekifo babadde bakirese kikyali ku mulamwa ogwokuwummulirwamu n’emizannyo.
NuweAbine yagambye nti, ekitundu ku kifo kya Centenary Park kigenda kuyitamu oluguudo nti eyo egenda kuba ntabiro ya mmotoka we zigenda okukyukira n’okuyitamu. Yagambye nti okuluzimba kugenda kutandika January 2027.
Ku lunaku lwe lumu, KCCA era yalumbye ekifo omutundirwa emmere n’ebyokulya e Naggulu nakyo ne bakimenya. Kino abatuuze baludde nga beemulugunya nti kirabisa bubi ekitundu kyabwe ate nga kirimu amayumba ag'ebbeeyi.
NuweAbiine yagambye nti basooka kulabula bannannyini bifo bino nga tebannamenya. Gye buvuddeko KCCA yayisa ebiragiro buli azimba mu kibuga okufuna pulaani n'okwewala okuzimba mu bibangirizi by’enguudo.