Amawulire

Bakutte ababbye Mobile Money e Bunamwaya

POLIISI e Katwe ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abavubuka 5 abali mu kabinja k'abazigu abeebijambiya abalumba amaduuka mu bitundu bya Makindye Ssaabagabo ne babba.

Bakutte ababbye Mobile Money e Bunamwaya
By: Eria Luyimbazi ne Stuart Yiga, Journalist @New Vision

POLIISI e Katwe ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abavubuka 5 abali mu kabinja k'abazigu abeebijambiya abalumba amaduuka mu bitundu bya Makindye Ssaabagabo ne babba.


Kiddiridde poliisi e Katwe okufuna omusango gw’ababbi abaalumbye edduuka lya mobile money e Bunamwaya ne balimenya ne babbamu ssente n’essimu, wabula kkamera ne zikwatako omu.


Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti, poliisi okukwata abavubuka bano kyaddiridde okulumba edduuka lya Mobile Money e Bunyamwaya mu Kisingiri zooni ne babba ssente ezitannamanyika muwendo n’essimu nga kino baakikoze mu kiro kya July 6, 2026 ku ssaawa 9:30.


Abaakwatiddwa kuliko; Eddie Believer Muwanguzi, Faisal Kato, Shafik Katongole, Abdullah Kiyingi ne Derrick Tumwine. Baasangiddwa Makindye mu Nabisaalu zooni nga poliisi okubakwata waliwo abatuuze abaagitemezzaako.


Baatutte poliisi gye basula ku kyalo Gangu B mu muluka gw’e Busaabala, mu disitulikiti y’e Wakiso era poliisi yasanzeeyo ebizibiti eby'enjawulo.


Okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti ekibinja kye kimu, kyakola obulumbaganyi ku dduuka eritunda engoye e Seeta, mu disitulikiti y’e Mukono, nga beeyambisa emmotoka ekika kya Toyota Noah enzirugavu.


 Emmotoka ezigambibwa okukozesebwa abasajja bano kuliko; Toyota Noah UBR 796R ne Toyota Wish UA 120CU. Abakwate bakyakuumirwa ku poliisi e Katwe ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Kivumbi (mu katono) ng'abaserikale bamuwalabanya bwe baabadde bamukwata e Mpigi ku Lwokutaano.

Tags:
Bunamwaya
Kukwata
Mobile Money
Makindye
Ssaabagabo