Amawulire

Poliisi ekutte omukozi w'awaka abadde yeefuula omukazi n'abba ssente gye bamutwala okukola

OMUKOZI w'awaka ababadde yeeyita omukazi okumala ekiseera, akwatiddwa mu bubbi bwa ssente , poliisi n'ekizuula nga bulijjo musajja.

Poliisi ekutte omukozi w'awaka abadde yeefuula omukazi n'abba ssente gye bamutwala okukola
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUKOZI w'awaka ababadde yeeyita omukazi okumala ekiseera, akwatiddwa mu bubbi bwa ssente , poliisi n'ekizuula nga bulijjo musajja.

Bino, bibadde Mutundwe mu diviizoni y’e Rubaga mu Kampala, Rukia Namirembe gy'amaze ekiseera ng'akolera awaka gye yali yasaba omulimu , okuyambako ku kulabirira abaana n'emirimu gy'awaka.

Kigambibwa nti oluvannyuma yeefuulidde mukama we, n'amunyagako ssente 1,700,000/ n'abulawo kyokka oluvannyuma poliisi y'e Nateete, n'emukwatira mu kkanisa e Mutundwe .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano , Racheal Kawala, akakasizza okukwatibwa kw'omuntu oyo n'agattako nti mu kumwaza, bakizudde nga musajja era nga ye Ryan Kayaga.

Agasseeko nti akkiriza eky’okuba ng'abadde yeeyita mukazi n'ekigendererwa eky'okwagala okubba gy'abeera atwaliddwa, okukola.

Tags:
Nateete
Mutundwe
Mukozi
Waka
Kubba
Ssente