Abantu 30 abagambibwa okwenyigira mu kubba, okugula n'okutunda amasimu amabbe, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu Kampala.
Kibaddemu okusattira abaserikale bwe bazinzeeko ekizimbe kyonna nga tewali akkirizibwa kufuluma wadde okuyingira okumala akaseera.
Kiddiridde amawulire mu by'okwerinda nti amaduuka ku kizimbe kino, Mulimu abagula n'okutunda essimu enzibe awamu n'okuzikyusakyusa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti bagenda kuggyibwako siteetimenti n'okwekaanya ebiwandiiko ebituufu, ebikwata ku masimu gano agaayooleddwa.