Abantu bataano abagambibwa okwenyigira mu bubbi obwenjawulo nga beeyambisa amajambiya bakwatiddwa.
Mu kikwekweto ekikoleddwa, poliisi ezudde emmotoka bbiri okuli Noah nnamba UBR 796R ne Wish nnamba UA 129 CU ezigambibwa okweyambisibwa mu bubbi.
Poliisi yafunye amawulire nti abenyigidde mu bubbi, bali Nabisaalu okumpi n'akatale e Katwe era kwekukwatako bataano.
Abakwatiddwa, kuliko Believer Eddie Muwanguzi, Faisal Kato, Shafic Katongole, abudallah Kiyingi ne Derrick Tumwine. Mu kwaza amaka e Ggangu B cell e Busabala, bazudde ebiso n'ebirala.