Amawulire

Eyafumise owa Boda ekiso e Kiboga n'adduka ne Piki-piki bamukwatidde Kasubi mu Kampala

Omuvubuka agambibwa okufumita owa boda boda ebiso ebimusse e Kiboga n'abulawo ne pikipiki ye, poliisi emukwatidde Kasubi mu Kampala. 

Eyafumise owa Boda ekiso e Kiboga n'adduka ne Piki-piki bamukwatidde Kasubi mu Kampala
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuvubuka agambibwa okufumita owa boda boda ebiso ebimusse e Kiboga n'abulawo ne pikipiki ye, poliisi emukwatidde Kasubi mu Kampala. 

Everest Tusiime 24 omutuuze w'e Namusera mu Wakiso, y'akuumirwa ku poliisi e Kiboga ku bigambibwa nti yasse  Aaron Sserwadda 40 abadde omutuuze w'e Kijojolo cell e Kakunyu ward e Bukomero mu Kiboga. 

Kigambibwa nti omugenzi abadde avugira ku stage y'e Kijojolo boda stage mu Kakunyu D cell e Bukomero era ng'eyo gyebamuggye okumupangisa. 

Kitegeezeddwa nti baavuzeeko 1 km nga batuuse awali omusiri gw'emmwanyi, omutemu n'amufumita ekiso mu mugongo ne mu bulago, oluvannyuma n'abulawo ne pikipiki eno nnamba UMA 806 BN Bajaj boxer. 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi , agambye nti akambe akaakozeseddwa mu ttemu lino ku Lwokutaano essaawa nga 4 ez'ekiro, nako baakazudde. 

Ayongeddeko nti Tusiime, bamukwatidde Kasubi mu Kampala, oluvannyuma lw'okufuna akabenje, omusaabaze gwe yabadde aweese n'afiirawo naye n'alumizibwa era nga  ne pikipiki baagifunye.

Tags: