Amawulire

Kalidinaali bamubbuddemu oluguudo

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y'e Mityana batongozza oluguudo olubbuddwa mu Kalidinaali Emmanuel Wamala, olw'okujjukira ebirungi bye yakolera ekitundu kino, bwe yali Omusumba w'Essaza lino.

Abakulembeze ba munisipaali y'e Mityana nga batongoza okukola oluguudo lwa Kalidinaali Wamala (mu katono ku kkono).
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y'e Mityana batongozza oluguudo olubbuddwa mu Kalidinaali Emmanuel Wamala, olw'okujjukira ebirungi bye yakolera ekitundu kino, bwe yali Omusumba w'Essaza lino.
Ekkubo lino liva Wabigalo ne lyetooloola awali amasomero ga St. Noa Kiyinda okuli Pulayimale ne siniya ne lituukira ddala e Kiyinda awamanyiddwa nga ku Musaalaba. Bw'abadde atongoza oluguudo luno, mmeeya wa Mityana, Faustin Lukonge Mukambwe agambye nti, lugenda kukolebwa kkoolaasi ow'omulembe ku nsimbi za Uganda akawumbi kalamba, ke baafunye okuva mu minisitule y'ebyenguudo. Amyuka akulira ebyemirimu n'abakozi mu munisipaali y'e Mityana Eric Kinobe, asabye abatuuze bagondere ebigenda okubakosa naddala okumenya ebikomera byabwe, n'abalabula nti  ewali muntu gwe bagenda kuliyirira, kubanga be bamenye bali mu kkubo.

Ate mmeeya wa divizoni y'e Busimbi, Haruna Kibirige, alabudde bayinginiya abagenda okukola oluguudo okwewala okukola gadibe ngalye. Kibirige yasiimye Pulezidenti Museveni ne minisitule y'ebyenguudo okubawa omukisa gw'okubakolera oluguudo luno olw'omulembe okutumbula enkulaakulana. Kalidinaali Wamala, ye Musumba eyasooka ow'Essaza lino mu myaka gya 1980.

Tags: