ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y'e Mityana batongozza oluguudo olubbuddwa mu Kalidinaali Emmanuel Wamala, olw'okujjukira ebirungi bye yakolera ekitundu kino, bwe yali Omusumba w'Essaza lino.
Ekkubo lino liva Wabigalo ne lyetooloola awali amasomero ga St. Noa Kiyinda okuli Pulayimale ne siniya ne lituukira ddala e Kiyinda awamanyiddwa nga ku Musaalaba. Bw'abadde atongoza oluguudo luno, mmeeya wa Mityana, Faustin Lukonge Mukambwe agambye nti, lugenda kukolebwa kkoolaasi ow'omulembe ku nsimbi za Uganda akawumbi kalamba, ke baafunye okuva mu minisitule y'ebyenguudo. Amyuka akulira ebyemirimu n'abakozi mu munisipaali y'e Mityana Eric Kinobe, asabye abatuuze bagondere ebigenda okubakosa naddala okumenya ebikomera byabwe, n'abalabula nti ewali muntu gwe bagenda kuliyirira, kubanga be bamenye bali mu kkubo.