Amawulire

Minisita ayagala olunaku lw'okulonda bassentebe ba L.C 1 lufuulibwe lwa kuwummula

MINISITA omubeezi owa Gavumenti ez'ebitundu, Justine Nameere ayagala olunaku  lw’okulonda bassentebe b’ebyalo olwa July 28, 2026 lufuulibwe lwa kuwummula mu ggwanga kisobozese abantu okusigala ku byalo beetabe mu kulonda.

Abatuuze mu Kasaato zooni nga beeyiye mu kifo we beewandiisiza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISITA omubeezi owa Gavumenti ez'ebitundu, Justine Nameere ayagala olunaku  lw’okulonda bassentebe b’ebyalo olwa July 28, 2026 lufuulibwe lwa kuwummula mu ggwanga kisobozese abantu okusigala ku byalo beetabe mu kulonda.
Nameere okusaba yakukoledde mu Palamenti ku Lwokusatu bwe yabadde awa lipooti ku  nteekateeka z’okulonda obukiiko bwa L.C 1, L.C II n’obukiiko bw’abakyala. Yasabye Palamenti egende mu luwummula, kisobozese ababaka  okukunga abantu okwetaba mu kulonda kuba wakyaliwo obwetaavu bw’okubasomesa obukulu bw’okulonda.

Omumyuka wa Sipiika, Thomas Tayebwa yagaanye ababaka okuteesa ku by’okulonda kwa L.C n’abasaba balinde minisita w’ensonga za ssemateeka lw'anaabeerawo mu Palamenti.
ABAAGALA OBWASSENTEBE BATEEREDDWAAKO AMATEEKA
Mu kiseera kye kimu, abeegwanyiza obwassentebe bwa L.C 1 bateereddwaako amateeka
n’obukwakkulizo obukakali mu  kunoonya obululu. Atwala ebyokulonda en Wakiso, Aidah Tusiime yatuuzizza olukung’aana e Nansana n’alabula abeegwanyiza obwassentebe okwewala; okuvuma, okuvvoola n’ebikolwa byonna ebikontana n’okulonda kuba anaakikola ajja kuwanduukululwa. Bassentebe abakyali mu ntebe, yabalabudde okwewala okukola kakuyege kuba ekiseera ekirambikiddwa mu mateeka okunoonyezaamu obululu tekinnatuuka.
Yagambye nti, ebikolwa by’okugulirira abalonzi n’abakozi  b’akakiiko k’ebyokulonda abali ku gw'okuwandiika abalonzi bimenya mateeka. N’abakozi b’akakiiko yabasabye baleme kuba na kyekubiira kuba anaakwatibwa waakukangavvulwa. Era yabalabudde okwewala okulengezza abavuganya n’okusosolagana okusinziira ku mawanga, ekikula ky’omuntu n'eddiini, okwewala obutabanguko. Abeebyokulonda e Nansana balabuddem bassentebe b’ebyalo okwewala okwenyigira mu kuwandiisa abalonzi kuba guno mulimu gw'akakiiko k'ebyokulonda. Era baweze obubinja bw'abavubuka obwakazibwako eggaali abamu ku beegwanyiza obukulembeze bwe  babadde bategese okukozesa mu kusaggula obululu.
Olukiiko lwetabyemu omumyuka wa RDC atwala Nansana, Charles  Lwanga, mmeeya wa munisipaali y'e Nansana, John Bosco Sserunkuuma ne RDC wa Wakiso Justine Mbabazi abaasabye abeesimbyewo okunoonya obululu mu mirembe awatali kusiiga bannaabwe ttoomi.
E MUTUNGO ABAMU BAGAANIDDWA OKWEWANDIISA
Waabaddewo okusika omuguwa mu kuwandiisa abaneetaba mu kulonda kwa LC1 mu zooni 1 e Mutungo, ssentebe bwe yalemesezza abamu ku bavubuka abaabadde bazze okwewandiisa ng'abalumiriza okupangisibwa okuva mu bitundu ebirala bajje balondere mu kitundu kye.
Obutakwatagana buno bwabadde wakati wa ssentebe wa Mutungo  Zooni 1 Agnes Nalweyiso Katamba ne Ibrahim Misagga. Misagga yalumirizza Nalweyiso obutasula mu kitundu n’agattako n’okulemesa abatuuze abamanyiddwa mu kitundu. Nalweyiso nayem yalumirizza Misagga okusomba abavubuka okuva mu bitundu ebirala okubawandiisiza mu kitundu kyabwe.
“Ekitundu kyaffe si kya kuzannyiramu kuba abavubuka bwe twabakunyizza gye  babeera, abamu bakkirizza nti baaweereddwa 2,000/- okujja okwewandiisiza mu kitundu.
Waliwo n’olukalala lw’amannya agaabadde galeeteddwa ne ngalemesa,” Nalweyiso bwe yagambye.
EYAVUGANYA KU BWA MMEEYA AYAGALA BWA SSENTEBE WA LC I
Eyavuganya ku bwassentebe (mmeeya) bwa Kalungu Town Council, Farouk Buyondo n’awangulwa mu kulonda okuwedde, avuganya ku bwassentebe bwa L.C 1. Buyondo eyaakavuganya ku ntebe ya Town Council emirundi esatu ng’agwa, yagambye nti abatuuze ku kyalo Lutente baamusembye abakulembere kuba bamumanyi ng’omuntu ow’enkulaakulana.
GWE BATEEKAKASA W'ASULA TAWANDIIKIBWA E LUBYA
E Lubya mu muluka gw'e Kasubi mu Kampala, abatuuze nga bakulembeddwa Joshua Mpunge beekozeemu omulimu gw’okukakasa nti buli awandiisibwa bamanyi w'asula.  Baataddewo piki bbiri nga buli ajja nga bamutankana abatwala w'asula nga tebannamussa mu kitabo kya batuuze.
Kyokka enkola eno yawakanyiziddwa abatuuze abamu nga bagamba nti bannaabwe abasula mu Kigobe baagaaniddwa nga babasindiikiriza okwewandiisiza e Namungoona 1, ate nga si gye bagwa. Nnaabakyala w’ekitundu, Janet Mbuliro yalumirizza omu ku
beegwanyiza obwassentebe okuba ne lijesita ewuwe ezifaanagana n’ez’akakiiko k’ebyokulonda.
SSENTEBE ATASULA KU KYALO BAGAANYE OKUMUWANDIIKA
Ssentebe wa Spire zooni mu Ndeeba, Ibrahim Nsubuga akulembedde ekyalo okumala  emyaka 10, bagaanye okumuwandiika mu lijesita ng’abatuuze bagamba tasula ku kyalo. Wabula Nsubuga yalaze Bukedde omuzigo n’agamba nti mw'abadde abeera emyaka egisoba mu 10 nti naye waliwo abakiwakanya nga baagala kumusuuza ntebe. Ababazzi mu Ndeeba mu zooni okuli; Nsiike, Kayanja ne Central bamakanika baasobeddwa bwe  baagaaniddwa okuwandiikibwa nga babalumiriza obutasula mu kitundu. Wabula beewozezzaako nti ekitundu mwe basiiba okuva ku makya obudde okuziba nga kiba kikyamu okwewandiisiza gye basula.
BWAISE
Eyeegwanyizaako obwammeeya w'e Kawempe, Hajji Wasswa Juma Ssekyanzi 55, alangiridde bw'agenda okwesimbawo ku bwassentebe bwa zooni ya St. Francis mu Bwaise III e Kawempe. Wasswa y’omu ku baasaba kkaadi ya NUP okuvuganya ku bwammeeya bw'e Kawempe, ne bagimumma ekyamuwalirizza okusaba ekya kkansala akiikirira Bwaise III era NUP n’etegimuwa, n'asalawo okwesimbawo ku bwannamunigina era n’awangulwa! Yategeezezza nti agenda kwesimbirawo mu kisinde kya PLU kuba NUP be baamuperereza okuva mu NRM nga bamusuubizza okumusembeza ku mwanjo kyokka gye byawunzikira nga bamuyeekedde

Tags: