Amawulire

Abaagala obwassentebe mu munisipaali y'e Nansana basannyalazza ebyentambula ne bawaga

Abeegwanyiza obwassentebe bajjidde mu ‘vayibu’ ng’abamu bazze basituddwa mu bbanga wakati mu bbandi okuvuga ate abalala nga bawerekeddwako oluseregende lw’emmotoka ssaako eggaali z’abavubuka ekisannyalaza emiriimu.

Abaagala obwassentebe mu munisipaali y'e Nansana basannyalazza ebyentambula ne bawaga
By: Steven Kiragga, Journalist @New Vision

Ebyentambula bisannyaladde ku nguudo ez’enjawulo mu diviizoni y’e Nansana abaagala obwa ssentebe bw’ebyalo bwe babadde beewandiisa nga buli omu afubye okulaga nti y’alina amaanyi n’obuwagizi, ekisannyalazza emirimu mu bitundu omuli Kazo, Nabweru ne Nansana.

Ssempagama Yusuf Ng'asituddwa.

Ssempagama Yusuf Ng'asituddwa.

Abeegwanyiza obwassentebe bajjidde mu ‘vayibu’ ng’abamu bazze basituddwa mu bbanga wakati mu bbandi okuvuga ate abalala nga bawerekeddwako oluseregende lw’emmotoka ssaako eggaali z’abavubuka ekisannyalaza emiriimu.

Ye Ssempagama Yusuf Kaye ng’avuganya ku bwassentebe bwa Nabweru South cell 2 wakati mu bawagizi be ategeezezza nga bw’azze okugogola obukulembeeze bw’ekyalo ky’agamba nti abatuuze tebaganyuddwa mu bukulembeze buliwo kwe kwesowolayo anunule ekyalo.

Kigozi Owa Kazo Muganzirwaza

Kigozi Owa Kazo Muganzirwaza

Ate Kizito James, owa Lugoba 2 ategeezezza nga bw’akomyewo okuweebwa ekisanja ayongere okutuusa empeereza eri abatuuze.

Ismail Kigozi owa Kazo muganzirwazza acamudde abantu bw’atemye ddansi wakati mu vayibu nga bamusitudde okumwetoolooza ekyalo n’ajjukiza abatuuze nti yekka y’alina obumanyirivu okukuuma ekyalo kyabwe mu mirembe.

James Kizito Owa Lugoba II Ng'asunsulwa.

James Kizito Owa Lugoba II Ng'asunsulwa.

Tags:
Byantambula
Nansana
Ssentebe
Munisipaali
Kusannyalaza