POLIISI y'e Matugga esanze akaseera akazibu bw'ebadde erwanagana n’omukazi agambibwa okusasamaza ekitundu nga yeefudde alinnyiddwako emmandwa nga agamba nti waliwo abantu abatta mukwano gwe eyali afumba emmere okumpi ne Centenary Bank e Matugga.

Poliisi Nga Yeeezooba N'omukazi Abadde Abalwanyisa.
Kigambibwa nti gye buvuddeko waliwo omukyala eyali afumba emmere ayitibwa Nnaalongo Aisha Nalugya eyali agitundira okumpi ne Centenary Bank e Matugga wabula okufa kwe kwaleeta ebibuuzo bingi ku kyalo.
Kyokka wabadde wayiseeko kumpi ssabbiiti bbiri ne zireeta omukazi eyeefudde nti alinnyiddwako omuzimu gwa Nnaalongo Nalugya nga gugamba nga bwe baamutta nga wano aliko omudaala kw'asibidde ekireetedde emirimu okusannyalala n'entambula ekivuddeko poliisi okutuuka mu kifo kino.
Kyokka poliisi bw'etuuse wabaddewo katemba ng'ekwata omukazi ono nga takirizza poliisi kumukwatako era bwe bamukutte bamutadde ku kabangali ya poliisi n'agitambulirako waggulu okutuuka wansi ekireetedde poliisi okutaama okukkakkana nga bamusinzizza amaanyi ne bamuzzaawo era ne bamuteeka wansi w'entebe okutuuka ku poliisi y'e Wattuba gye basibira abakyala.
Mu kwogerako n’atwala poliisi y'e Matugga, Farouk Bikaba agambye nti ekikwasizza omukyala ono kwe kwagala okuggyawo abantu kuba emmotoka zibadde tezikyatambula ekibadde ekizibu nga balinda embeera esooke ekkakkaneko oluvannyuma bamuyimbule.