Amawulire

Babangudde bannabizinensi mu nzirukanya y'emirimu

BANNABIZINENSI bakubiriziddwa okwongera  obukodyo mu nzirukanya ya bizinensi zaabwe okusobola okuwangula ebisoomooza n'okweyongera okusikiriza bakasitoma.

Akulira ekitongole Kya Customer 'Experience' Association Agatha Antonina ne munnabizinensi munne bwebagenda boogerako eri bannamawulire mu Kampala
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNABIZINENSI bakubiriziddwa okwongera  obukodyo mu nzirukanya ya bizinensi zaabwe okusobola okuwangula ebisoomooza n'okweyongera okusikiriza bakasitoma.

Amagezi gano gabaweereddwa ab'ekitongole kya ' Customer experience' mu nsisinkano eyayindidde mu Kampala nga yeetabiddwaamu abakulira amakampuni okwetolola eggwanga okwongera okubabangula ku nzirukanya ya bizinensi.

Akulira ekitongole kino Antonina, Agatha Ojiambo Odhiambo yannyonnyode nti kyamuwendo nnyo abakulira amakampuni oba bannannyini bizinensi okuteekateka obulungi ebifo webakolera wamu n'okutendeka abakozi okuviira ddala ku Asikari akuuma ku ggeeti enkwata ya bakasitoma .

Omukungu okuva mu kitongole kya Customer Experience' Association Rosette Najjemba Ssegujja bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala

Omukungu okuva mu kitongole kya Customer Experience' Association Rosette Najjemba Ssegujja bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala

Mu mbeera nga tekinologiya yeeyongedde, Ojiambo yategeezezza nti kyamagezi okumwettanira kuba kyanguya mu nkola y'emirimu nga kw'otadde n'okutuusa ku bakasitoma obuweereza obw'amangu .

Omukungu okuva mu kitongole kino, Rosette Najjemba Ssegujja yagambye nti okunoonyereza kulaga nti bizinesi ezisinga obungi naddala ku lukalu lwa Afrika teziwangaala nga kino kivudde ku ngeri gye ziddukanyizibwamu etali ya bukugu .
Yawadde eky'okulabirako ekya bbanka nti ebiseera ebiggya zeetaga zongere okutereezaamu obuweereza eri bakasitoma naddala eri abakyala b'embuto, abalwadde n'abalina okusomoozebwa okwenjawulo nga tebalwisibwa nnyo mu layini. 

Tags: