Emiranga n'okwazirana bibuutikidde abatuuze b'e Katooke A mu munisipaali ye Nansana oluvanyuma lw'amasanyalaze okukuba omuyizi wa p.2 Aaron Katimbo nafirawo

Omungenzi Aaron Katimbo nga bw'abadde afaanana
Kigambibwa nti Katimbo afudde mu budde bwa malya ge kye misana bw'akutte ku waya ebadde ku muti gw'a masanyalaze kyokka abatuuze bavudde mu mbeera poliisi bw'eruddewo okukima omulambo okugutwala okwongera okwekebejjebwa

Abatuuze nga bakungaanidde wali omulambo
Wano difensi w'e kyalo kino Umar ssendawula wakati munyiike asabye ekitongole kya UEDCL okuvaayo ekole ku waya ezirengejja ku miti e kintu ekiteeka obulamu bw'a batuuze mu katyabaga.
Kuteesakwe Everson owooluganda lw'omugenzi asabye Gavumenti okubayambako mu mteekateeaka z'okuziika
Oluvannyuma poliisi etutte omulambo mu ddwaliro e mulago okwekebejjebwa.