“Obupiira obufulumizibwa tebukyatuuka basajja”
Okunoonyereza okwakoleddwa omukago ogutaba ebibiina ebirwanyisa mukenenya mu ggwanga, ogwa Uganda Network of AIDS organizations kulaze nti obupiira ‘bukalimpitawa’ tebukyatuuka basajja,buyulika buyulisi nga babutaddeko, ekivuddeko siriimu okweliisa enkuuli mu bantu.

Omukungu okuva mu kitongole ekirwanyisa Siriimu ekya Uganda Network of AIDS service Organisation ng'asoma lipooti
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akalondoola ensonga za mukenenya beewuunyizza nnyo okuwulira nti obupiira bukalimpitawa obufulumizibwa ennaku zino tebukyatuuka basajja ekivuddeko abakwatibwa mukenenya okweyongera.

Ababaka ba palamenti abali ku kakiiko kano nga bawuliriza.
Ssenkulu w’ekitongole kino, David Othieno eno gy’ategeerezza ababaka nti ekikula ky’obupiira obufulumizibwa ennaku zino tekiyamba babukozesa kubanga butono mu sayizi ng’abasajja bwe babukaka okubwambala buyulika buyulisi ekintu ekivuddeko abantu abakwatibwa mukenenya okweyongera.
Othieno asabye palamenti okuperereza gavumenti eyongere ssente z’ewa ebitongole ebirwanyisa mukenenya ekizibu kino kinogerwe eddagala.
Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akalondoola ensonga za mukenenya Stephen Kisa agambye nti ensonga bagenda kuzongerayo mu minisitule y’ebyensimbi.