OMUBAKA Muhamood Masaba (Bunghoko) awanjagidde gavumenti wamu ne minisitule y’ebyettaka emudduukirire mu ggombolola y'e Busano ne Bufoto mu disitulikiti y’e Mbale erambike ettaka ly’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko mu ggwanga ekya Uganda Wild Life Authority we likoma n’ategeeza nti awatali ekyo, embeera eyinza okusajjuka.
Abatuuze be, yagambye nti babeera balwanagana n’abaserikale ba UWA naye ng’entabwe eva ku ttaka ekitongole kye ligamba nti lyakyo nga kibeera kisindiikiriza abaliko balyamuke so nga nabo si beetegefu ekitaddewo obunkenke.
Mu kiseera kino, emmere y’abatuuze eyonoonebwa, bawamba ensolo zaabwe nga kw’otadde n’okusibisa abamu ku bo.
Embeera eno agamba nti egenda kwongera obwavu mu bantu n’obukaawu nga kyetaagisa gavumenti ebadduukirire mu bwangu abatuuze ne UWA buli omu amanye w’ayisiza n’ensalosalo.
Yategeezezza nga Pulezidenti Museveni bwe yalagira Kattikiro wa Uganda emyaka ebiri egiyise okunoonyereza ku nsonga eno era lipooti ekolebwe wabula nga wadde yagendayo tebamanya nga biri mu lipooti.
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obulambuzi Suzan Nakawuki yavumiridde ekikolwa ky’okulumya abantu era n’ategeeza nti musango eri yenna anaakwatibwa, n’asuubizza okulondoola ensonga eno bunnambiro.