PALAMENTI ekungubagidde abadde omuzannyi wa Uganda Cranes ne SC Villa Jogo David Owori eyafudde eggulo oluvannyuma lw'okulumbibwa abazigu ejjo okumpi n'amaka ge agasangibwa e Makindye.

Sipiika Tayebwa bwe yabadde akubiriza Palamenti eggulo.
Ono kigambibwa nti yakubibwa ppeeva ku Lwokubiri ku ssaawa nga 2:00 ez'ekiro bwe yali ayingira awaka we okumpi n'essomero lya Kibuye Primary School e Makindye.

Omubaka Paul Mwiru(Jinja South Division East) ategeezezza Palamenti nti David Owori, abadde kaputeeni wa ttiimu ya SCVilla ate nga yali omuzannyi wa Uganda Cranes.
Mwiru yasabye Katikkiro wa Uganda okuleeta alipoota ku nsonga eno. Amyuka sipiika wa palamenti, Thomas Tayebwa (Ruhinda North) bwe yabadde akubiriza palamenti eggulo yalagidde wabeewo akaseera ak'okusiriikirira bakungubage n'okusabira omwoyo gw'omugenzi.

Owori Eyafudde
Tayebwa era yategeezezza Mwiru nti ekya lipooti tekijja kweetagisa kubanga eno nsonga ya byakwerinda, era ayagala wabeewo obwenkanya eri ffamire ye, poliisi ekole butaweera okunoonya abaakikoze.