Amawulire

Abazigu basse omuwala omulambo ne bagusuula ku mabbali g'ekkubo ne bakuuliita

ABANTU  abatannamanyika basse omuwala , omulambo gwe ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo nga baguzinze mu ssuuka empya.

Abazigu basse omuwala omulambo ne bagusuula ku mabbali g'ekkubo ne bakuuliita
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU  abatannamanyika basse omuwala , omulambo gwe ne bagusuula ku mabbali g'oluguudo nga baguzinze mu ssuuka empya.

 

Entiisa eno, ebadde  ku kyalo Kisutwa mu ggombolola y'e Gayaza e Kyankwanzi, abatuuze bwe bakedde okugwa ku mulambo gw'omwana omuwala nga gusuuliddwa ku mabbali g'ekkubo eriyita mu kitundu ekyo okugenda e Kiboga, Ntwetwe ne Nkoko.

 

Omuwala ono abadde alabika obulungi nga wakiwago era ng'asibye obuviiri obulange ng'asaze n'ekimemeya, kirowoozebwa nti atemera mu myaka nga 20 era nga mu kiseera kino, omulambo guggyiddwawo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Ntwetwe okugwekebejja.

 

Okusinziira ku ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, Charles Sempijja, omugenzi tamanyiddwa mu kitundu nga kiriwoozebwa , nti bamuggye walala.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi, agambye nti teguliiko nkwagulo era nga kirowoozebwa okuba nti y'andiba nga yafiiridde mu kamu ku bulwaliro, omulambo ne bagusuula mu kitundu ekyo.

 

Agasseeko nti bakola kyonna ekisoboka, okulaba nga bazuula abali emabega w'ettemu lino.

Tags:
Mpya
Bantu
Ntwetwe