KKAMPUNI ya Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde edduukiridde abayizi b’esomero ly’abasibe erya Uganda Government Prison Kigo Main Prison’s Primary and Secondary Schools n’ebitabo bya bukadde 3.
Yabakubirizza okuteeka amaanyi mu kusoma kibayambe okuva mu kkomera nga balina kye beeyongeddeko ekinaabayamba okweyimirizaawo.
Ate ye kitunzi wa Vision Group, Joel Turinawe yagambye nti ku butabo 100, bwe bawaddeyo bwa masomo ga njawulo okuli okubala, olungereza, Physics, Biology ne Chemistry nga kuno kuliko n’obweyambisibwa abasomesa mu kusomesa nga bwakuyamba abayizi okuva ku s.1 okutuuka ku s.3.
Yakunze amakampuni ag’enjawulo okukwatagana ne Vision Group okulaba nga bakyusa obulamu bwa bannayuganda naddala abali mu bwetaavu nga abasibe.
Avunaanyizibwa okunoonyeza ebintu bya Vision Group akatale Peter Raymond Mugisa eyakiikiridde akulira kkampuni ya Vision Group ne kitunzi Joel Turinawe ebitabo baabikwasizza omumyuka w’akulira ekkomero lino Darius Nawurinda n’omukulu w’essomero lino Samuel Binen.
Binen yagambye nti basoomoozebwa ebikozesebwa mu kubangula abayizi naddala mu masomo ga ICT ne ssaayansi, ssaako ebikozesebwa ebirala ng’ebibiina, entebe n’ebitabo ebirimu ku nteekakateeka y’ebyensoma empya.
Yeebazizza kkampuni ya Vision Group olw’okubadduukira n’ebitabo by’agamba nti bijjidde mu kiseera ekituufu.
Binen yagambye nti mu kiseera kino balina abayizi 240 ku mutendera gwa pulayimale nga 200 ku bano balenzi ate mu siniya balina abayizi 85, kyokka ng’amasomero gano gali ku musingi gwa bwannannyini ekiraga nti balina obwetaavu bintu ebikozesebwa okusobola okuvuganya n’amasomero amalala.
Yayongeddeko nti yadde okusoma kwa bwereere eri abasibe, kyokka tebabakaka kwegatta ku ssomero era nga mu kiseera kino balina abantu ab’omugaso mu ggwanga bangi abayise mu mikono gyabwe ne bakyukira ddala.
Omumyuka w’omukulu w’essomero Darius Nuwarinda yasiimye kkampuni ya Vision Group olw’Omulimu gw’ekola ogw’okumanyisa eggwanga ebigenda mu maaso ng’eyita ku mikutu gyayo egy’enjawulo n’okubadduukirira n’ebitabo by’agamba nti bigenda kuyamba abasomesa baabwe n’abayizi okwongera okubanguka.
Yagambye nti obwetaavu bw’ebitabo n’ebikozesebwa ebirala kikyali kya kusomoozebwa mu matendekero g’amakolero ag’enjawulo bw’atyo n’asaba amakampuni amalala okulabira ku Vision group okubadduukira.
Yayongeddeko nti tebakoma ku kyasomesa basibe bya mu kibiina byokka wabula babatendeka ne mu masomo g’ebyemikono ng’okubajja, okutunga, okuyimba ne katemba ssaako eby’emizannyo.