Amawulire

Omuyizi nnyina gwe yagambyeko obutaagala kusoma amusanze yeesudde mu kidiba n'afa

OMUYIZI ow'emyaka 15 ng'abadde asoma mu siniya ey’okusatu , agudde mu kidiba ky'amazzi n'afa e Bukomero.

Omuyizi nnyina gwe yagambyeko obutaagala kusoma amusanze yeesudde mu kidiba n'afa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUYIZI ow'emyaka 15 ng'abadde asoma mu siniya ey’okusatu , agudde mu kidiba ky'amazzi n'afa e Bukomero.

 

Poliisi e Bukomero eri mu kunoonyereza ku nfa ya Priscilla Nannyonjo 15 abadde omuyizi mu S.3 ku ssomero lya Bukomero S S  era nga muwala wa Fatuma Naluggwa . Babadde babeera Temanakali mu ggombolola y'e Bukomero mu disitulikiti y’e Kiboga.

 

Okugwa mu kidiba, kyaddiridde okufunamu obutakkaanya ne nnyina nti ng'amusindiikiriza okugenda ku ssomero  kyokka omuwala n'amuddamu nga bwe yabadde ayozezza yunifoomu ye, nga mbisi.

 

Kigambibwa nti kino kyaddiridde omuwala okufuluma ennyumba ng'akaaba era nnyina bwe yamugoberedde, yasanze ngatto  ku mabbali g'ekidiba  ekiri mu kibanja kya John Kinaalwa.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti omulambo guggyiddwawo ne gwekebejjebwa n'oluvannyuma ne guweebwa abooluganda ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Muyizi
Myaka
15
Mazzi
Kidiba
Bukomero
Kufa