Amawulire

Akalippo ku kya Gavt. okufunira Besigye bapuliida okumuwolereza

KKOOTI ewadde Besigye olukalala lwa balooya 700 alondeko abamuwolereza, oluvannyuma ne bamulonderako basatu bagira batwala omusango mu maaso. Wabula akalambidde nti ye ayagala Erias Lukwago ne Munnakenya Martha Karua.

Abawaabi ba Gavumenti nga bawa Besigye ne Lutale empapula eziriko obujulizi obubalumiriza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKOOTI ewadde Besigye olukalala lwa balooya 700 alondeko abamuwolereza, oluvannyuma ne bamulonderako basatu bagira batwala omusango mu maaso. Wabula akalambidde nti ye ayagala Erias Lukwago ne Munnakenya Martha Karua.
Besigye, omuyambi we Hajji Obed Lutale ne Capt. Denis Oola baabadde bakomyewo mu kkooti eggulo omusango gwabwe okwongera okutambula n’abuulira omulamuzi nti ku Lwokubiri akawungeezi baafunye olukalala oluliko bannamateeka 786 ne balagirwa okulondako abanaabawolereza.

Besigye yagambye nti, yeetaaga okwekenneenya olukalala asobole okufunako abanaamuwolereza obulungi kubanga emisango egibavunaanibwa minene nnyo era gyakwegendereza kubanga kigambibwa gyazzibwa ku nsi nnya ng’obujulizi obumu bwetaaga obukugu obw’enjawulo obwekenneenya noolwekyo nga balonda balooya, kyamakulu okusooka okumanya obusobozi bwabwe.
Yannyonnyodde kkooti nti, olukalala lwe baabawadde luliko amannya ga balooya, gye babeera, emyaka gye bamaze nga bakola, n’ennamba zaabwe ez’essimu wabula beetaaga okulaba obusobozi bwabwe nga tebannalondako. N'agamba, beekakasa ttiimu ya balooya baabwe yokka.
Kyokka ebbaluwa okuva ew'amyuka omuwandiisi wa kkooti eyasomeddwa omulamuzi, Emmanuel Baguma yagambye nti, tebaafuna kwanukula kwa Besigye ne Lutale ku nsonga ya balooya noolwekyo babalondedde balooya babawolereze. Balooya abaalondeddwa kuliko; Sylvia Namawejje Ebitu, Sserwambala Julius ne Sarah Awelo.
Baguma yatangaazizza abawawaabirwa nti, bannamateeka bonna baataddemu okusaba era ne basengejjebwa noolwekyo Besigye wa ddembe okulonda kw’abo. Balooya abapya baasabye wiiki bbiri okusobola okuyisaamu mu bujulizi bw’oludda oluwaabi olwo bawolereze bulungi Besigye ne Lutale.
Besigye bamuwadde wiiki bbiri alondeko balooya b’ayagala, bamusisinkane era abawe obujulizi oludda oluwaabi bwe lwamuwadde, ate abaamakomera babawe bye beetaaga okwekenneenyaobujulizi bwonna.
KKOOTI TERINA KUKAKA MUWAWAABIRWA - BANNAMATEEKA
Robert Ssenfuka yannyonnyodde nti omuntu bw’awawaabirwa omusango ogwa nnaggomola, aba n’eddembe okubeera ne looya era kikakata ku Gavumemti okumuwa balooya bw'ataba na ssente zibapangisa. Yagambye nti, wadde kiri bwe kityo, Gavumenti tekkirizibwa kukukaka kukkiriza bannaamteeka, kyokka ekuwa omukisa okulonda ku be baba bakufunidde. Yannyonnyodde nti, mu mbeera eno, Besigye asobola okugenda mu kkooti ya Ssemateeka etapute oba omuntu asobola okuwozesebwa nga talina looya gw’ayagala.

Tags: