Minisita wa Gav't ez'ebitundu Balaam Baruhagara akyagenda mu maaso n'okugogola wamu n'okukwata abagambibwa okulya enguzi ssaako n'okukozesa obubi ensimbi za Gav't.
Leero abadde ku ssomero lya Namisindwa SS gy'asanze Toilet egendamu abaana abasoba mu 500 nga nayo ndwadde ssaako n'ebintu ebirala ebingi ebibadde tebitambula bulungi mu ssomero lino ekimuwalirizza okukwata akulira eby'engiriza mu District ye Namisindwa william Lusayihas n'amukwasa ab'obuyinza