POLIISI e Mbale , eyigga omuvuzi wa bodaboda agambibwa okutomera pikipiki endala , abadde agivuga n'agwa mu mipiira gya ttuleera, n'emubetenta omutwe.

Abantu nga beetegereza omulambo ogubadde gulagamye ku kkubo.
Kabaddemu tuleera nnamba UBN 667 Y HOWO ate nga ye omugenzi James Watawa 55, omutuuze ku kyalo Buwodada e Sironko , abadde atambulira ku pikipiki nnamba UGD 997A ekika kya Kawasaki.
Kigambibwa nti omugenzi, abadde mu maaso g'ekimotoka kino nti bw'atuuse ku Kaguta road, ng'agezaako okwagala okuweta, owabbooda abadde amuva mu maaso, n'amukoona n'agwa mu mipiira gya ttuleera n'emulinnya n'afa. Owabboda akoze akabenje, adduse era bamuyigga.

Omugenzi Watawa bw'abadde afaanana.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti omugenzi abadde ddereeva wa bbaasi ya Mbale School of Nursing and Midwifery era omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mbale okugwekebejja n'ebidduka byombi, bikuumirwa ku poliisi e Mbale.