Amawulire

Owabbooda akoonye munne n'amusuula mu mipiira gya ttuleera n'emubetenta!

Kigambibwa nti omugenzi, abadde mu maaso g'ekimotoka kino nti bw'atuuse ku Kaguta road, ng'agezaako okwagala okuweta, owabbooda abadde amuva mu maaso, n'amukoona n'agwa mu mipiira gya ttuleera n'emulinnya n'afa. Owabboda akoze akabenje, adduse era bamuyigga.

Owabbooda akoonye munne n'amusuula mu mipiira gya ttuleera n'emubetenta!
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

POLIISI e Mbale , eyigga omuvuzi wa bodaboda agambibwa okutomera pikipiki endala , abadde agivuga n'agwa mu mipiira gya ttuleera, n'emubetenta omutwe.

Akabenje, kabadde ku luguudo lwa Tororo highway mu maaso ga Police Children School Wanyera.

Abantu nga beetegereza omulambo ogubadde gulagamye ku kkubo.

Abantu nga beetegereza omulambo ogubadde gulagamye ku kkubo.

Kabaddemu tuleera nnamba UBN 667 Y HOWO ate nga ye omugenzi  James Watawa 55, omutuuze ku kyalo Buwodada e Sironko ,  abadde atambulira ku pikipiki nnamba UGD 997A ekika kya Kawasaki.

Kigambibwa nti omugenzi, abadde mu maaso g'ekimotoka kino nti bw'atuuse ku Kaguta road, ng'agezaako okwagala okuweta, owabbooda abadde amuva mu maaso, n'amukoona n'agwa mu mipiira gya ttuleera n'emulinnya n'afa. Owabboda akoze akabenje, adduse era bamuyigga.

Omugenzi Watawa bw'abadde afaanana.

Omugenzi Watawa bw'abadde afaanana.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti omugenzi abadde ddereeva wa bbaasi ya Mbale School of  Nursing and Midwifery era omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mbale okugwekebejja n'ebidduka byombi, bikuumirwa ku poliisi e Mbale.

Tags:
Bbooda
Kulinnya
Mutwe
Kusuula
Mipiira
Ttuleera