CHARLES Owino abamu gwe bamanyi nga O2 (Oxygen) eyakwatiddwa ne Charles Boogere, amanyiddwa nga (Waya-waya), awuniikirizza poliisi bw’akkirizza eby’okutta gw’agamba nti ye ‘muganzi we Victoria Nakamya, 23.
Poliisi egamba nti Owino yali yadduka bwe yakitegeera nti anoonyezebwa. Abaserikale b’ekitongole kya Flying Squad, baamulondodde ne bakizuula nti aliko akazigo mw’abadde yeekukumye e Katoogo mu muluka gw’e Kinnawattaka mu Diviizoni y’e Nakawa.
Owino yagezezzaako okudduka kyokka ne baamukwatira e Mukono n’ababuulira engeri gye yakozesa enn ondo n’ebiso okutta Nakamya.
Yalumirizza nti waliwo abagagga babiri abaamuwa ddiiru y’okubalembekera omusaayi nga bamusuubizza okumuwa obukadde bwa ssente 5 nga minsoni yagirimu ne Boogere ow’e Nyenga amanyiddwa nga ‘Wayawaya’ nga naye oluvannyuma yakwattiddwa.
Poliisi yakutte abagagga aboogerwako wabula baagenze okwekebejja amasimu gaabwe n’agabatemu nga tewali bujulizi bubaluma ekyawalirizza poliisi okwongera okukunya abasibe, ne bayasa ebyama.
Owino, yagambye nti, okwesiba ku bagagga yakikoze okubeesasuza kuba baamusibisa mu kkomera nga bamulanga okubabba.
Kyokka wakati mu kubakunya, Owino, yagambye nti okutta Nakamya yakikola ng’atidde nti, ayinza okumukolako olugambo ku ttemu lye yakola ku wa booda Wycliffe Nyende, eyali ow’e Bulyankuyege.
Owino agamba nti okutta Nyende, baali baamubbako ppiki ye nnamba UGE 722B ekika kya Bajaj Boxer, nga Nakamya, yabagwako n’alaba byonna ebyaliwo kwe kusalawo naye okumumiza omusu.
Poliisi yategeezezza nti okunoonyereza ku ffayiro y’okutta Nyende (CRB: 357/2026) n’eya Nakamya (CRB: 362/2026) kugenda mu maaso era abavunaanibwa baakutwalibwa mu kkooti.
FAMIRE YA NAKAMYA EYOGEDDE
Betty Namutebi, nnyazaala wa Nakamya, yagambye nti Owino okuyita Nakamya muganzi we si kituufu kuba mutabani we Shafic Mwase gw’abadde yafumbirwa ng’amulinamu n’abaana babiri.
Namutebi agamba nti yatemezza ku poliisi oluvannyuma lw’okuzuula Nakamya ng’attiddwa mu bukambwe kuba abatemu baasoose kumusobyako nga n’abaana be balaba.
Wakati mu kuyunguka amaziga, Namutebi, yagambye nti bbebi asembayo yamusanze avulubanye omusaayi ku mumwa, ku lugoye, ne ku mutwe, bwe yagezezzaako okuyonka omulambo gwa nnyina, nga tamanyi nti yabadde afudde.
“Okutegeera nti, Nakamya attiddwa, nasoose kulaba mutabani we ng’afulumye akaaba ng’agamba nti, “maama mulwadde,” Nagenze okuyita nga teri kanyego okutuusa lwe nasembedde ne ndaba ng’ali mu kitaba ky’omusaayi,” Namutebi bwe yategeezezza poliisi.
BOOGERE ANNYONNYOLA:
Yagambye nti booda gye babba ku Nyende baaliko omugagga gwe baagiguza e Jinja n’agibawamu emitwalo 80 era ddiiru z’okubba booda Owino ye yazimuyingizaamu kuba ye yali mubbi wa ttivvi. Bombi bakyakuumirwa ku poliisi y’e Njeru, ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.