Amawulire

Poliisi eyodde 30 abagambibwa okwenyigira mu kubba, okugula n'okutunda amasimu amabbe

Abantu 30 abagambibwa okwenyigira mu kubba, okugula n'okutunda  amasimu amabbe, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu Kampala.

Poliisi eyodde 30 abagambibwa okwenyigira mu kubba, okugula n'okutunda amasimu amabbe
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 30 abagambibwa okwenyigira mu kubba, okugula n'okutunda  amasimu amabbe, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu Kampala.

Mu kikwekweto kino ekiyindidde ku kizimbe kya Cooper Complex mu Kampala, era bazudde essimu 300 ezirowoozebwa okuba enzibe.

Kibaddemu okusattira abaserikale bwe bazinzeeko ekizimbe kyonna nga tewali akkirizibwa kufuluma wadde okuyingira okumala akaseera.

Kiddiridde amawulire mu by'okwerinda nti amaduuka ku kizimbe kino, Mulimu abagula n'okutunda essimu enzibe awamu n'okuzikyusakyusa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti bagenda kuggyibwako siteetimenti n'okwekaanya ebiwandiiko ebituufu, ebikwata ku masimu gano agaayooleddwa.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kukwata
Mateeka