Amawulire

Minisita yennyamidde ku ntambuza y'eddwaaliro e Mbarara

MINISITA w'ebyobulamu, Dr. Chris Baryomunsi yennyamidde olw'embeera n'enkola y'emirimu mu ddwaaliro lya Gavumenti ery'e Mbarara.

Minisita Baryomunsi ng'ayogerako n'abalwadde wamu n'abajjanjabi ku ddwaaliro ly'e Mbarara.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISITA w'ebyobulamu, Dr. Chris Baryomunsi yennyamidde olw'embeera n'enkola y'emirimu mu ddwaaliro lya Gavumenti ery'e Mbarara.
Yawuubyeko olubu lw'ebigere mu ddwaaliro lino mu kiro ekyakeesezza olwa Mmande oluvannyuma lw'okuwulira omulanga gw'abalwadde abeemulugunya olw'obutafiibwako.

Yatuuse mu ddwaaliro ku ssaawa ttaano ez'ekiro nga tewali amusuubira era yatuukidde mu waadi etuukirwamu abalwadde abayi (Emergyecy). Yagenze abuuza ku balwadde abaabadde ku ndaba ku ki. Anti baamulojjedde ennaku gye bayitamu okufuna obujjanjabi.
Abajjanjabi baamutegeezezza nti, okufuna obuweereza mu ddwaaliro lino olina kusooka kukwata mu nsawo kyokka nti, ne bw'owaayo ssente, obujjanjabi tobufunirawo. Yabasabye ebiwandiiko bye basasulirako, ne bamutegeeza nti, awamu tebabawa lisiiti!
Omujjanjabi eyasangiddwa mu Medical ward, Edith Kyamukazi yategeezezza nti omujjuzo mu ddwaaliro gwayonoona ebyobuyonjo era nti oluusi omulwadde agendayo kwejjanjabisa bulwadde bulala kyokka w'aviirayo ng'awakankudde endwadde endala eziva ku bucaafu.
Akola nga dayirekita w'eddwaaliro lino, Dr. Deus Twesigye yayingiddewo ku ssaawa musanvu ogw'ekiro era yasanze minisita akyalambula.
Minisita yatuuseeko mu leeba gye yasanze omuzaalisa, Amutuhaire Rosesette eyamuloopedde okusoomeezebwa kwe basanga omuli; obutaba na bikozesebwa mu kuzaala kubanga bamaama bangi bajja okuzaala nga tebalina wadde enkampa!.
EYAFUDDE OLW'ABASAWO OBUTABAAWO ABIZADDE
Wiiki ewedde ku Lwokusatu, amawulire gaafulumira ku TV West ng'omulwadde afiiridde mu kisenge awajjanjabirwa abakyala. Brenda Tuhirirwe 25, okuva e Isingiro ye yafudde nga kigambibwa nti kyavudde ku basawo obutabeera ku mulimu. Ono yabadde alina okuteekebwako omusaayi kyokka yafudde olw'abasawo okubulawo mu kiseera ekyo.
Amawulire gano gaasaasaanye nga luyiira, okukkakkana nga minisita abitaddemu engatto agende yeelolere ku kigenda mu maaso mu ddwaaliro lino.
Oluvannyuma, minisita yayogeddeko eri bannamawulire n'avumirira embeera gye yasanze mu ddwaaliro. Yanokoddeyo obutasangayo mbeera yonna eraga okwetangira obulwadde bwa Ebola.
Yagasseeko nti, mu ddwaaliro lino tewali ddagala wadde tewannayita mwezi nga NMS ebawadde eddagala! Yasuubizza okukola lipoota ku nsonga eno n'okunoonyereza eddagala gye ligenda.
Dr. Deus Twesigye yategeezezza nti byonna ebyogerwako aludde ng'abiwulira. Ku ky'eddagala, yagambye nti, oluusi babawa ttono okusinziira ku balwadde be bafuna

Tags: