EMIWENDO gy’ebintu mu Kampala ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo gitandise okupaaluuka ng’abasuubuzi buli omu atunda miwendo gigye ekitabudde abakulembeze n’abaguzi ne balajanira Gavumenti ekolewo eky’amangu.
Ebirinnye kuliko; sukaali, ssabbuuni, butto, omunnyo n’ebimu ku byokunywa era ababisuubuza mu bitundu eby’enjawulo bawera nti bikyagenda mu maaso n’okweyongera kubanga amafuta n’emisolo ebyatandika okukola nga July 1, 2026 bitandise okuluma era abaguzi balina okunywera.
MU KIKUUBO, NABUGABO NE ARUA PARK KIRI KITYA
Ensawo ya sukaali eya kkiro 50 bagisuubuza 165,000/- okuva ku 155,000/-. Omunnyo baagulinnyisizza okuva ku 27,000/- okudda ku 30,000/-, ssabbuuni bookisi evudde ku 55,000/- n’erinnya okutuuka ku 62,000/-. Ekidomola kya butto wa Roki kirinnye okuva ku 140,000/- okutuuka ku 155,000/- mu Kikuubo.
Amaduuka agasuubuza ebyamaguzi bino gaategeezezza nti ebyamaguzi ebisinga byongezeddwa lwa nsonga ya mafuta. Nti amafuta gaatandika okulinnya ne gabawaliriza okwongeza ebyamaguzi nga n’embalirira tennaba ate mu mbalirira bwe gassibwako omusolo, ne gujabagira.
Omusuubuzi w’omu Kikuubo, Brian Kato yategeezezza nti babadde bagezezzaako okulindako okulinnyisa emmaali naye kibayitiriddeko kati basazeewo bongeze. Ate Moses Kyambadde ku William Street yagambye nti Gavumenti esaana eveeyo eyambeko kuba embeera mwe bakolera mbi. Abavuzi b’ebidduka okuli aba ttakisi babadde tebannaba kutandika kulinnyisa kyokka basiibye mu nkiiko okutunuulira embeera y’amafuta gy’egenda.
“Buli alina ky’atunda kati ayagala kukyongeza awatali kukubwa ku mukono era Gavumenti yokka y’esaana okuvaayo ebayambeko naye ebyenfuna biddiridde nnyo,” Kyambadde bwe yagambye.
Ssentebe wa KACITA, Issa Ssekitto yagambye nti bamaze ebbanga nga bategeeza Gavumenti eveeyo ekendeeze ku musolo naye yagaana okuyamba eggwanga. “Buli omu kati ayongeze ky’atunda asobole okugula ky’atalina era abasuubuzi kye bakola kati,” Ssekitto bwe yagambye.
Yategeezezza nti buli kimu Gavumenti ekimanyi, naddala ku nsonga y’amafuta n’emisolo. Yagambye
nti ebyamaguzi ebikolebwa mu ggwanga byandibadde tebyongezebwa naye ebintu bye bakozesa babitumya bweru wa ggwanga ate nga babitambuza na mafuta. Ate Thadius Musoke Nagenda owa NETA yagambye nti abasuubuzi tebakyalina kinene kye babagamba kuba ebiwandiiko babitambuzza mu ofiisi zonna eza Gavumenti ekikwata ku misolo naye tewali kikolebwa.
Yagambye nti bagenda kuddamu okutuukirira Gavumenti baddemu bagisabe eyingire mu misolo emingi naye essuubi eririwo kati ttono kubanga embalirira yatandise dda okukola.
Omwogezi w’abasuubuzi mu Kikuubo, Samuel Muyomba, yagambye nti abamu batandise okwongeza naye ate basuubira nti singa Gavumenti tevaayo kuyamba, ebintu bigenda kuddamu birinnye.