OMUNTU omu afiiriddewo n'abalala 15 ne baweebwa ebitanda mu kabenje ka bbaasi mw'etomereganidde ne ttuleera e Bugweri.

Omupiira gwa bbaasi ogwayonoonese bwe gufaanana.
Abamu ku balumiziddwa, kuliko Joseph Iraat S.3, Emmanuel Obweikal S.3, Samuel Martine Opio S.4, Martine John Ingirot S.4, Simon Emodit S.3, Samuel Aanyu S.3, Jermiah Ouma, S.4, Silver Okurut S.3.
Abalala ye Isaac Alibet S.4, Samuel Oila S.3, Timothy Okit S.3, Mark John Ocen S.3, Perez Nyasurura S.4, George Oluga nga musomesa ne kondakita wa bbaasi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Michael Kasadha, ategeezezza nti akabenje kagudde ku kyalo Nawangisa ku luguudo oluva e Mbale okudda e Iganga mu disitulikiti y'e Bugweri.

Bbaasi eyayingidde mu ttuleera.
Agasseeko nti bbaasi ebadde etisse abantu 73 nga boolekera ku mwalo e Kasenyi e Ntebe okusoma ku ssaawa nga 10:45 nga bukya, kwe kusanga ttuleera ku mabbali g'ekkubo n'ekikoona ng'egiva emaba ge , ddereeva n'afiirawo.