Amawulire

Bannayuganda abalina bizinensi e South Africa bali mu kusoberwa

NGA Bannayuganda abasoose okudduka ekibabu ky’e South Africa batandise okutuuka mu ggwanga gye babadde bateten kanyiza, abalinayo bizinensi ez’amaanyi basobeddwa.

Kibombo ng’alaga sipeeya gw’atunda.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NGA Bannayuganda abasoose okudduka ekibabu ky’e South Africa batandise okutuuka mu ggwanga gye babadde bateten kanyiza, abalinayo bizinensi ez’amaanyi basobeddwa.

Abasuubuzi, banneekolera gyange, abalina ebibanda bya mmotoka, abatunda sipeeya, abakola ebya wooteeri ez’amaanyi ne loogi entonotono mu ggwanga eryo tebamanyi kye bazzaako olw’okugobaganyizibwa kyokka nga balina ebituufu ebiboogerako ne bizinensi zaabwe naye nga bannansi baayo ababagobaganya tebawuliriza.

Saida Isma owa Sanua Tours and  Travel ng’abeera Kempton Park  alina n’edduuka eritunda sipeeya.

Saida Isma owa Sanua Tours and Travel ng’abeera Kempton Park alina n’edduuka eritunda sipeeya.

Eggulo omuwi w’amagezi mu kibiina kya Convention of Ugandans in Southern Africa ayitibwa Gavana Kevin Raymond Ssonko, yategeezezza nti, embeera esajjukidde ddala ne beekolamu obukiiko obutaasa bannaabwe abali ne mu kufa enjala olw’obutakyakola ng’ate tebava na mu nnyumba.

Ssonko yategeezezza Bukedde nti, ‘Tactical Team’ gye baakoze, egenda eggya abantu mu mayumba gaabwe n’ebatwala mu bifo bibiri (2) we babakung’aanyiza mu bibuga 2 okuli; Pretoria Center Repatriation mu kibuga Pretoria n’ekifo ekirala mu kibuga ekisinga obunene mu ggwanga eryo ekya Johannesburg.

Francis Zavuga Ssendi ow’e  Johannesburg alina kkampuni  ekuba ebiwandiiko mu kyapa.

Francis Zavuga Ssendi ow’e Johannesburg alina kkampuni ekuba ebiwandiiko mu kyapa.

Ssonko eyabadde ne Munnayuganda omulala, Haula Bunnya alina wooteeri ey’amaanyi

mu kibuga ekikulu Pretoria, era nga bwe bali ku kakiiko akakung’aanya bannaabwe, yagambye nti, batikka bbaasi emu ku emu ng’ejjura bagiwerekera okutuuka we bakuumirwa.

We bakuumirwa bwe bawera nga babatwala ku kisaawe nga batikkibwa ku nnyonyi eyaweereddwaayo Gavumenti ya Uganda okubakomyawo.

Haula Bunnya omu ku balina  bizinensi ya wooteeri e Pretoria. Kozesa App ya Vision Digital Experience olabe vidiyo.

Haula Bunnya omu ku balina bizinensi ya wooteeri e Pretoria. Kozesa App ya Vision Digital Experience olabe vidiyo.

Ennyonyi eyabanonye eggulo era ye yabaddeko ne Pulezidenti w’ekibiina ekyo, Moses Kibombo agatta bonna abali mu maserengeta ga Africa omuli n’amawanga amalala okuli; Zambia, Namibia, Zimbabwe, Lesotho, Mozambique n’amalala.

We nayogeredde ne Ssonko, nga bbaasi bbiri emu erimu Bannayuganda 100 okuva ku Center ya Pretoria ng’endala erimu 150, abaabadde batwalibwa ku Center y’e Johannesburg. Bwe bajjuza ennyonyi nga babatwala ku kisaawe kya Oliver Thambo International Airport e Johannesburg okubazza mu Uganda.

Mulongo Hassani  Kato owe Hammanskraal (ku kkono)  ng’ali ku wooteeri ye.

Mulongo Hassani Kato owe Hammanskraal (ku kkono) ng’ali ku wooteeri ye.

Ng’abo bakomawo, abalina bizinensi ez’amaanyi abamu bakyalemeddeyo olw’engeri y’okusoberwa bwe bazireka ng’ate zirimu ssente empitirivu. Haula yagambye nti, talina kya kukola wooteeri yasoose kugiggala nga bw’alinda okumanya ekiddako.

Waliwo abaategeezezza Bukedde  nti, Gavumenti yabawa amagezi, baziguze bannansi bo badde ewaabwe. Abalala baabawa amagezi baweemu emigabo bannansi baayo kyokka ng’ate bo baagala kutwalaza bwereere.

Tags: