OMUKUUMI w'ekitongole ky'obwannannyini avudde mu mbeera n'akkakkana ku mutembeeyi n'amufumita ebiso ebimusse.
Kigambibwa nti Mugisha, asoose kugobaganya omutembeeyi okuva mu kifo ekyo, nga n'ekiddiridde kuwaanyisiganya bisongovu, era mu mbeera eyo, kigambibwa nti omukuumi avudde mu mbeera n'afumita omutembeeyi ekiso ekimusse.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, agambye nti gwe basse, abadde tannategeerekeka bimukwatako era ng'omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Agasseeko nti Mugisha akwatiddwa poliisi nga n'ekiso ekigambibwa okweyambisibwa mu ttemu, nakyo, kizuuliddwa.