OKULONDA kwa LC okw’omulundi guno oyinza okugamba nti kwa vvaawompitewo. Mu bitundu bingi, abaagala obwassentebe baatandikiddewo okukola kakuyege.
Bangi bataddemu omudidi okusikiriza abalonzi nga kino kye kitandise okweraliikiriza naddala abalwanyisa enguzi n’abatuuze mu bitundu nga beebuuza lwaki omuntu akozesa obukadde bwa ssente ku mulimu ogumusasula omutwalo ogumu (10,000/-) omwezi!
Waliwo abatandise okuddaabiriza enguudo mu bitundu gye beesimbye, abazimbye enzizi, abasimye nayikonto ate abalala batadde ssente mu bibiina naddala eby’abakyala n’abavubuka ku byalo.
Abamu bakubisizza ebipande ebinene nga n’ebimu bijula kusinga eby’ababaka ba Palamenti, ekyongedde okuleeta ebibuuzo ng'abantu beebuuza wa we bafunira.
Ku byalo ebimu, abavuganya ku bwassentebe bali kkumi (10) n’omusobyo.
Eyaliko omubaka wa Makindye East, John Ssimbwa yagambye, ensonga nnyingi eziviiriddeko abeegwanyiza obwassentebe bw’ebyalo okubeera abangi n’okuyiwa omusimbi mu kalulu ng’agamba, wadde bangi baagala kuweereza naye n’abatunuulidde okukutula ddiiru bangi.
Yagambye, entebe ya ssentebe wa LC1 etambulirako obuvunaanyizibwa bungi omuli; okukola endagaano z’ebibanja, ebbaluwa z’ekyalo, okukubiriza kkooti y’ekyalo ng’agamba nti y’ensonga lwaki oli ayiwamu omusimbi bamulonde afune ofiisi mw’atuula olwo yeekole ekigenyi.
Agamba, ku mulembe guno nga ekibbattaka kyeyongedde naddala mu Buganda, tekyewuunyisa okuba nti abeegwanyiza obwassentebe bangi ate ne bassaamu ssente nga n’abamu babbulooka ba ttaka. N'awunzika nti, bano baagala kufuna sitampu y’ekyalo beeyoolere ssente.
OBUKODYO BASSENTEBE MWE BALIIRA SSENTE
Ng’oggyeeko 10,000/- ez'omusaala, Simbwa alaze emikutu emirala bassentebe mwe baliira;
lOkutunda ekibanja, ssentebe afunako ebitundu 10/100.
lEbbaluwa y’ekyalo nayo bassentebe bagisasuza.
lPulogulaamu za Gavumenti nnyingi zisooka mu ofiisi ya ssentebe era abaako akasente akamuweebwa okukunga abatuuze okwenyigiramu.
lKkooti y’ekyalo bw’etuula, ssentebe taviirayo awo.
lMu bibuga, abantu abasenguka, ebiseera ebisinga amayumba gaabwe bagalekera bassentebe ba LC okugasolooza, era tebakolera bwereere.
lEnkiiko nnyingi ssentebe z’ayitibwamu era bamuwa entambula.
lSsimbwa agamba nti ssentebe w’ekyalo ye mulamuzi wa kkooti y’ekyalo era awo nawo oluusi aliirawo.
Ssaalongo Yolanimu Senoga, avuganya ku bwassentebe bwa Village 31 Naggulu I Parish, agamba, kituufu abantu bayiye ssente mu kalulu. Yagambye, ssente eziteekebwamu abaagala ebifo, abamu baziteekamu okusitula embeera z’abantu mu bitundu byabwe ng’agamba nti wadde omusaala mutono naye ofiisi bagisuubira okubagatta ku bantu ab’enkizo abasobola okubasitula nga tebabbye batuuze.
BASSENTEBE ABAKOMYEWO
Ssentebe wa Kisenyi III e Luzira, Hajji Muhammad Kayiira Musibankutu ayagala kisanja kyakusatu. Ono yakulemberako ku mulembe gwa RC 1 n’awummula. Agamba, ekituufu abantu bayiye ssente nnyingi mu kalulu naddala abapya.
Ate Charles Okoth nga ye ssentebe wa Ssendawula Zooni yakomyewo kisanja kyakusatu yagambye nti, abatadde ssente mu kalulu kano boolekedde okutomera. N’agamba ye tataddeemu naye asuubira nti abatuuze bajja kuddamu okumwesiga.
ABAKUGU BAWABUDDE ABALONZI KU BEEGWANYIZA OBWASSENTEBE
Alvin Mutebi omu ku balwanyisa enguzi mu kitongole kya Anti Corruption Coalition Uganda agamba nti, ssentebe w’ekyalo Ssemateeka amusembeza ku mwanjo mu nteekateeka zonna ezituusa obuweereza ku bantu okuviira ddala ku muntu agula ettaka, ebbaluwa y’ekyalo ekuyamba okufuna obuweereza obw’enjawulo n’ebirala.
Agamba, ssentebe w’ekyalo y’alina okutandikirwako okulondoola pulogulaamu za Gavumenti eziba zizze ku kyalo okulaba nga temuli nguzi. Noolwekyo, omuntu eyagulirira aba alina okukola ky’asobola okuggyayo ssente ze nga kyangu n’okwezza ssente ze baba baweerezza ku kyalo.
Ate akulira ekitongole ekirondoola ensaasaanya y’ensimbi mu kkampuni ya Alliance for Finance Monitoring, Henry Muguzi agamba nti, ssente ate bwe ziyingira mu kalulu ka ssentebe w’ekyalo, kaba kabaate. Agamba nti, ekifo kino kikulu nnyo mu ggwanga n'asaba abalonzi obutawubisibwa ssente.