Amawulire

Omuwabuzi wa Pulezidenti azzizza omukadde ku kibanja kye

OMUWABUZI wa Pulezidenti mu nsonga ez’enjawulo, Phionah Barungi azzizza omukadde ow’emyaka 98 ne ffamire ye ku kibanja kyabwe e Ttula Kawempe kwe yali yagobwa mutabani we, n’akitunda.

Phionah Barungi ((ku kkono) ng'awaniridde nnamukadde Nalubega gwe yazzizza ku kibanja kye. Amuddiridde y'amyuka RDC w'e Nansana Charles Lwanga n'omumyuka we Daniel Mugarura.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUWABUZI wa Pulezidenti mu nsonga ez’enjawulo, Phionah Barungi azzizza omukadde ow’emyaka 98 ne ffamire ye ku kibanja kyabwe e Ttula Kawempe kwe yali yagobwa mutabani we, n’akitunda.
Edisa Nalubega yagobwa mutabani we, David Kivumbi ku kibanja kya yiika bbiri n’akiguza omugagga Mahad Katamba. Barungi yabadde n’omuyambi we Daniel Mugarura, amyuka RDC w'e Nansana, Charles Lwanga, poliisi, abaakakiiko n’abatuuze abalala.

Baasoose kulambula konteyina enfunda, Nalubega mw’abadde yeezinga ne muwalawe, Jesca Nakiwala eri ku ttaka lino. Barungi yategeezezza nti, azze kuteekesa kiragiro kya kkooti mu nkola okuddiza omukadde ekibanja kye n’alagira poliisi okumuwa obukuumi.
Ekibanja kino kiri ku bbulooka 200 poloti 216 e Kyadondo wabula kyakyusibwa nga kati kiri ku poloti 1595, 1594 1803 ne 1804. Ku ttaka lino kwaliko amaka n’emizigo gy’abapangisa mukaaga, Nalubega gye yali asolooza, ekkanisa ya The word of God and Consuming Miracle Centre, olusuku nga byonna byasaanyizibwawo.
Nalubega yaddukira mu ofiisi ya Barungi nga yeemulugunya ku mutabani we Kivumbi okumugoba ku kibanja. Yategeezezza nti amugoba ye mulenzi yekka mu baana be omukaaga era yamusomesa n’afuna diguli e Makerere n’afuna n’emirimu egy’ebbeeyi mu Gavumenti.
Agattako nti, omwana ono oluvannyuma yakola mu ofiisi ya Pulezidenti n’awummula mu 2016.
Nalubega yagambye nti, ettaka lino baaligula ne bba omugenzi Damascus Sebwato mu 1952. Nti bwe yafa, Kivumbi yamusikira n'atandika okubayigganya ng’agamba lirye era y’alinako ekyapa, ate nnyina waakibanja.
Yabawaabira ku poliisi e Kawempe eyabasiba mu 2018. Baddukira mu kkooti enkulu ne baggulawo omusango gw’okubagobagana ku ttaka lyabwe, era omulamuzi Benard Namanya yagusala mu 2023 n’alagira omukadde okudda ku kibanja kye.
Wabula okuva olwo, bazze beekubira enduulu mu ofiisi ez’enjawulo okuyambibwa okuteekesa ekiragiro kya kkooti mu nkola kyokka ne balemererwa.
Ssentebe w'ekyalo kino, Joseph Senkima yagambye nti, ensonga zino abadde azimanyi kubanga baludde nga battunka.
Kivumbi yategeezezza nti, ettaka lirye, kitaawe yalemwa okuligula ku nnanyini lyo, Erisa Kasule ye kwe kulisasula. Yagambye, bwe yamala okuligula n’aliguza omugagga Katamba.
Looya wa Mahad yagambye nti, balina ekiwandiiko ekyavudde mu kkooti ekiyimiriza byonna ebikolebwa mu kiseera kino.

Tags: