Amawulire

Omuvubuka agambibwa okukuba abantu ppeeva n'abanyagako ebintu akwatiddwa poliisi

POLIISI e Kira ekutte omuvubuka agambibwa okukuba abantu ppeeva n'abanyagako ebintu byabwe.

Omuvubuka agambibwa okukuba abantu ppeeva n'abanyagako ebintu akwatiddwa poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Kira ekutte omuvubuka agambibwa okukuba abantu ppeeva n'abanyagako ebintu byabwe.

 

Joel Nkwasibwe  bamukwatidde mu zzooni ya  Balintuma e Kiwatule mu Kampala era nga babadde bamuyigga ku ttemu n'obubbi , ebizze bikolebwa.

 

Kitegeezeddwa nti  nga July 6, omukwate, yakubye omugoba wa bboda ppeeva, n'amunyagako ebintu era nga mu kiseera kino, owabbooda ali mu kufuna bujjanjabi e Mulago.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Racheal Kawala, ategeezezza nti waliwo n'abantu abalala abakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa.

 

Ate ye amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala , Luke Owoyesigyire, agambye nti mu bikwekweto ebirala ebyakoleddwa, baayodde 60 e Kawempe, mu Kibaati, e Kansanga Mutungo zzooni 1, ku nnya ne Bajjo , Ntinda ne Seeta Mukono ,e Kabalagala baakutte 30 , e Mukono 22,  n'awalala.

Tags:
Amawulire
Ppeevaa
Poliisi
Kukwatibwa
Muvubuka